Bya Betty Namawanda
Masaka
Abavubi abawangalira ku myalo egyenjawulo mu disitulikiti y’e Masaka bennyamivu olw’ebyennyanja ebifa entakera ne basaba be kikwatako okusitukiramu bunnambiro okunoonyereza ku buzibu buno obubasuza nga tebeebase.
Abavubi okwogera bino, basinzidde ku myalo okuli; Kaziru, Bukakata ne Lambu nga gino gisangibwa mu ggombolola y’e Bukakata. Abavunaanyizibwa ku by’envuba n’abeekitongole ky’obutonde bw’ensi ekya Action for Sustainable Development Initiative okuva ku disitulikiti, babadde bagenzeeyo nga banoonyereza ku mbeera eno eriwo.
Abavubi babategeezezza nti embeera ebasusseeko wadde ng’abakugu bagamba nti okunoonyereza okwakolebwa kw’alaga nti tebifa butwa naye ekituufu ekibitta tekinnamanyika.
Akulira kkampuni ya Mpongo evunaanyizibwa ku mwalo gwa Lambu, Rashid Babu, annyonnyodde nti bali mu kutya kuba tebakyasobola kuvuba era nga n’amaato ge bakozesa baagasimba olw’embeera eno ey’okusoberwa.
Ate ye akulira okulwanirira obutonde bw’ensi e Masaka, Rose Nakyejjwe, agambye nti obuzibu buva ku bantu abasaanyaawo butonde wamu n’abo abasuula kasasiro mu mazzi, ekintu ky’agamba nti kya bulabe era n’alabula abalima mu ntobazzi.
Asabye wabeewo enkola ennung’amu erambika enkozesa y’ebigimusa, eddagala ery’obutwa wamu ne pulaasitiika okukendeeza ku kusaanawo kw’obutonde bw’ensi. Wano akulira ebyenvuba ku disitulikiti eno, Moses Ssemambo, asabye abavubi obutaggwaamu maanyi kubanga kino kigenda kuggwaawo mu bwangu nga kivudde ku kukendeera kw’omukka ogw’obulamu ekiviirako ebyennyanja okuziyira.
Bo bannakyewa abalwanirira obutonde bw’ensi okuva mu kitongole kya Action for Sustainable Development Initiative nga bakulembeddwamu Antonio Kalyango, balabudde gavumenti ku bunafu mu kukwasisa amateeka ku butonde bw’ensi nti kye kivuddeko obuzibu eggwanga ne lifiirizibwa ensimbi.