Bya Ssemakula John
Kampala
Gavumenti ekkiriza kkampuni ezitwala abantu mu mawanga ag’enjawulo okuddamu okukola oluvannyuma lw’okusitula ku muggalo n’amateeka agaali gaaziteekebwako mu kaweefube w’okukendeeza ku nsaasaana y’ekirwadde kya Ssennyiga Corona.

Okusinziira ku Minisita avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu n’abakozi, Frank Tumwebaze, Minisitule ye egenda kufulumyawo ebiragiro ebirina okugobererwa amakampuni agatwala abantu ebweru, kiyambe obutatambuza kirwadde kino.
“Tutegeeza kkampuni zonna ezirina layisinsi okutwala abantu ebweru n’okubafunira emirimu nti oluvannyuma lw’okusitula ku muggalo n’okukendeeza ku biragiro n’amateeka ga Minisitule y’ebyobulamu wamu n’okukkiriza ennyonyi okuddamu okukola.
Minisitule y’abakozi n’ekikula kya bantu eggyeewo ekkoligo ku kkampuni ezitwala abantu ebweru,” Tumwebaze bw’agambye.
Minisita Tumwebaze alambise nti kkampuni zino zisuubirwa okutambulira wansi w’ebiragiro ebiggya ebyafulumizibwa eri abantu abafuluma n’okuyingira eggwanga mu mbeera ya Ssennyiga Corona.
Ono agasseeko nga Omuwandiisi w’enkalakkalira mu Minisitule eno bw’agenda okufulumyawo ekiwandiiko ekyenjawulo ku birina okugoberera.
Mu mwezi gwa March, gavumenti yayimiriza okutwala abantu mu mawanga g’ebweru okuli; Ekyombo kya Buwarabu, Saudi Arabia, Qatar, Jordan, Somalia, Kuwait, Bahrain, Afghanistan, ne Iraq, okuziyiza ekirwadde kye kimu.
Era nga gyebuvuddeko ekibiina ekigatta amakampuni agatwala abantu ebweru ekya Uganda Association of External Recruitment Agencies (UAERA), nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe, Baker Akantabira, baavaayo ne basaba gavumenti eggulewo kkampuni zino kubanga buli kaseera omulimu gwabwe gubadde gwongera okusaanawo.
Uganda erina kkampuni 187 ezikkirizibwa mu mateeka okutwala abantu ebweru n’okubafunira emirimu.








