Bya URN
Palamenti eweze abatembeeyi abataundirayo ebintu eby’enjawulo oluvanyuma lw’abavubuka babiri, Mutasa Kafeero ne Senjako Dafala okubuuka okuva mu kabanyi awatuula abagenyi nebagwa ababaka webatuula.
Abakulira eby’okwerinda kati tebakyakkiriza muntu yenna atalina densite eraga nti akolera mu palamenti.
Kati abakkirizibwa bebabaka, abakozi wamu ne bannamawulire abakolera mu palamenti saako abalongoosa wamu nabakola mu birabo by’emmere abalina densite ezibakkiriza okuyingira.
Abasigadde baweebwa densite ey’ekiseera okusobola okukyalako mu palamenti.
Ng’abavubuka tebannabuuka kugwa mu palamenti, abantu baabulijjo baatundanga ebintu eby’enjawulo omuli ebibala, emmere, amaggi n’ebintu ebirala.
Ababadde batunda eby’okulya bino aboogeddeko ne URN bagambye nti bafiiriddwa
ssente nyingi olw’okugaanibwa okuyingira palamenti.
Omu kubano
agambye nti abadde akola 150,000 buli lunaku naye kati nga takyalina kyakola.
Omubaka akiikirira essaza ly’e Kazo
Gordon Bafaki ne munne akiikirira ebizinga by’e Bukooli, Abbot Ouma bagambye nti
okunyweza eby’okwerinda tekitegeeza kugyako batembeeyi bano mirimu.
Kyokka ayogerera palamenti Helen Kaweesa yeeganye nti wabaddewo abatembeeyi abatunda
ebyokulya mu palamenti.