Bya Gerald Mulindwa
Kampala
Abayizi naddala abo abamalirizza emirimu gyabwe ne batikkirwa, basabiddwa okwewala enguzi esusse mu ggwanga okusobola okutumbula enkulaakulana. Bino byogeddwa Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku nsonga za Kabbineeti n’amawulire, Owek. Noah Kiyimba, bw’abadde yeetabye ku mukolo gw’okutikkira abayizi ba Universal Institute of Graphics and Technology e Nsambya ku Sharing Hall mu Kampala.
“Ku nsonga y’obulyi bw’enguzi, nze ndowooza nti mwe abayizi abayitidde mu Universal Institute, mugenda kuyambako nnyo mu kulwanyisa obulyi bw‘enguzi nga mmwe temugirya, mbasaba mmwe abayitidde wano munyweze obwerufu.” Owek. Kiyimba bw’agambye.
Ono alabudde abayizi ku bbula ly’emirimu n’asaba abayizi okukozesa obukugu bwe bafunye batandikewo emirimu wadde era wajja kubaawo abalina okuginoonya. Minisita Kiyimba annyonnyodde nti ensangi zino abavubuka balulunkanira ebyenfuna era kino kibasudde mu buzibu n’abasaba okubeera abengendereza ku kigambo ky’ebyenfuna. Akubirizza abayizi obuteegulumiza nti basomye bamazeeko, wabula amaaso bagatunuulize bazadde baabwe ababatuusizza ku buwanguzi.
Ssenkulu w’ettenddekero lino, Eng. Jackson Ssonko agambye nti ekigendererwa ky’okutandikawo ettendekero lino kituukiridde bulungi kubanga basomesezza abayizi abasobola okwetandikirawo emirimu olw’obumanyirivu bwe bafuna mu masomo ge babasomesa.
Guno gwe mulundi ogwokutaano ng’ettendekero lino litikkira abayizi era abayizi abasoba mu 100 be batikkiddwa.