Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi erabudde abantu ab’enjawulo naddala abavuzi b’ebidduka awamu n’abatambuza ebigere abanaakwatibwa nga batambula mu budde bwa kafyu, ekikontana n’ebiragiro ebyafulumizibwa okutangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Kino kiddiride Pulezidenti Museveni okuddiriza ku muggalo ku Lwokutaano oluwedde wabula omuggalo n’agulekawo ku ssaawa 7:00 ez’ekiro okutuuka ku ssaawa 5:30 okugezaako okukendeeza ku bumenyi bw’amateeka naddala obubbi obuyinza okubaawo mu kiro.
“Awatali kafyu, abantu bangi bajja kuba bacakala nnyo mu budde bw’ekiro, naye basobola okunywera mu maka gaabwe.” Museveni bwe yategeeza eggwanga.
Mu ngeri yeemu n’abavuzi ba boodabooda baayongerwa ku budde okuva ku ssaawa 11 ze baali bakomako ne balagirwa okukoma ku ssaawa 12 ez’olweggulo.
Ku nsonga eno, amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, annyonnyodde nti okutandika n’Olw’okubiri, bagenda kubeera bakambwe nnyo ku abo abamenye ebiragiro bya COVID-19.
“Buli anaasangibwa ng’amenya ebiragiro bya kafyu, agenda kukwatibwa n’emmotoka zigenda kutwalibwa era basimbibwe mu kkooti bavunaanibwe.” Owoyesigire bw’ategeezezza bannamawulire .
Ono alabudde abantu okwetegeka obulungi baleme kukwatibwa kuba tewali muntu gwe bagenda kuttira ku liiso.