Bya Ssemakula John
Kampala
Bannayuganda abasuubulira mu mawanga g’ebweru naddala e China, balaajanidde gavumenti okuvaayo okukoma ku bachina ababayisa ng’ekitagasa bwe baba bagenze e China okunonayo ebyamaguzi.
Bano bagamba nti beewuunya olw’engeri gavumenti ya kuno gy’esusutamu abachina kuno ne batuuka n’okugoba bannansi ku ttaka omuchina atandikireko bbizineesi kyokka nga bo bwe bagenda e China, batuuka n’okukwata ku nnyindo nga balabye omuddugavu mu nsi yaabwe.
Omu ku bano Kanyana Nashiba ategeezezza nti wadde gavumenti ya kuno yagezaako okuteekayo enkolagana wakati waayo n’eggwanga lya China, wabula bwe batuukayo bayisibwa ng’abatali bantu ekitadde obulamu bwabwe mu matigga.
Ate ye Sadic Kabaliisa ng’ono ebintu abifunira ku mutimbagano agamba nti, Abachina beeyisa obubi kuba emirundi mingi atumya ebintu n’abaweereza ssente wabula tebabimuwa kyokka nga ssente ze baziridde, ekintu ekimuzizza emabega kuba talina w’ayinza kuloopa.
Kabaliisa annyonnyola nti singa oyambibwa ebintu by’otumiriza ku mutimbagano ne bijja bwe biba biwera obisanga tebituukana na mutindo gwa kuno, ekiviiraako ab’ekitongole ekikebera omutindo okubikwata kyokka nga yateekamu ssente.
Akulira Shunku Express Air Cargo, Kudrah Ssajjabbi Kazibwe agamba nti tebakoma kunyigirizibwa mu China yokka, wabula ne bwe batuusa emmaali kuno , ate ebitongole nga URA ne bitandikira bali we baba bakomye.
Ssajjabbi Kazibwe, ategeezezza nti ebintu ebitono bye baba bafunye, kya nnaku nti bwe bituuka ku kisaawe e Ntebe, abakulu abakola ku kusasuza n’okukebera omutindo gw’ebyamaguzi ate nabo ne babafuukira ekizibu.
Bano basabye abakulu be kikwatako okulaba nga wabaawo enteeseganya okusobola okubateekerawo enkola ennung’amu ey’okutambuzaamu ebyamaguzi byabwe okuva e China okutuuka lwe bituuka gye babitundira.