Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka – Buddu
Abeebyokwerinda e Masaka baggaddewo kkampuni ya Superlife egambibwa okufera abavubuka abasoba 250 okubawa emirimu okukola mu ssemaduuka naye nga tegiriiyo.
Bino bibadde ku kyalo Kirumba era nga kyazzeewo oluvannyuma lwa poliisi okukwata abavubuka bano abasoba mu 250 ng’ebateebereza okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka olw’embeera gye baabaddemu.
Abakulira kkampuni eno, poliisi ebakutte ebanoonyerezeeko ate bo abaaferebwa ne balagirwa okuddayo mu Ankole ne Kigezi gye baava.
Omubaka wa Pulezidenti e Masaka, RCC Fred Bamwine, agamba nti baafuna okwemulugunya okuva mu bavubuka 30 abaaferwa kkampuni ya superlife ng’eno yabaggyako emitwalo 50 ng’ebasuubizza okubawa emirimo naye ne batagifuna.
“Tukutte abaana 250 nga bava mu disitulikiti ez’enjawulo naddala Western Uganda okuli; Kyenjojo Fort Portal, Isingiro. Abaana baabalimbalimba nti bagenda kujja kukola mu ssemaduuka/ super market, kumbe be super market teriiyo. Babaggyako ssente emitwalo 50 bw’otuuka eno ng’oziwaayo nga bakugamba nti naawe oyite abalala nabo baleete sente”. RCC Bamwine bw’atyo bw’akkaatirizza ku nsonga eyo.
Bamwine yannyonnyodde nti bano bakuumirwa mu mbeera ya mugotteko ekiyinza okuvaako ekirwadde kya Corona ate ng’abawala babadde batandise okukuba obwamalaaya mu Masaka era nga babadde basula wamu.
Wabula abamu ku bakulira bannaabwe mu kkampuni eno okubadde Ayebare okuva e Isingiro beewolerezza nga bagamba nti baliwo mu mateeka era ne bannyonnyola n’ebikwata ku ddagala lye batunda. Ayebare ategeezezza nti batunda ddagala eryongeza obutafaali obukwabyisa endwadde mu mubiri.
Gye biggweeredde nga RCC, Fred Bamwine asibye ababakulira ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.