Bya Ssemakula John
Kampala
Abasomesa ku ttendekero lya Makerere University Business School (MUBS), balabudde obutaggulawo ttendekero lino singa gavumenti tebongeza ku ssente ze bafuna ekisuubizo kye bagamba nti bakirinze okumala emyaka.
Okulabula kuno abasomesa baakukoze ggulo ku Ssande mu lukung’aana lwa bannamawulire olwatudde mu Kampala era ne balabula abayizi obutaddirawo nga October 15 kuba tebajja kuggulawo nga tebannasasulwa ssente zaabwe.
Omwezi oguwedde Pulezidenti Yoweri Museveni yalagira ng’abayizi abagenda okukola ebibuuzo ebyakamalirizo ku mitendera egy’enjawulo (Candidates) bwe balina okuddamu okusoma mu mwezi guno ng’ennaku z’omwezi 15.
Bano abeegattira mu kibiina kya Makerere University Business School Academic Staff Association, bagamba nti bamaze emyaka 10 nga bagezaako okusaba bongerwe ku musaala naye nga gavumenti tebafaako.
Ssentebe w’ekibiina kino yagambye nti kati akaseera katuuse babeeko nekye bakolawo.
Muyomba yategeezezza nti mu December wa 2018 baasisinkana Pulezidenti Museveni era nebakkaanya okubongeza omusaala mu mwezi Gwomusanvu 2020 era ng’ensisikano eno ne Minisita w’ebyenjigiriza Janet Museveni yagirimu.
Abasomesa ku ttendekero lino baagala Cansala aweebwe omusaala gwa bukadde 20 ate omumyuka we asasulwe obukadde 14.4, abali ku ddaala lya Puloofeesa baweebwe obukadde 15.6 ne ‘Associate Professor’ obukadde 14.8.
Baagala ba ‘Senior lecturer’ bakufune obukadde 9, ‘lecturer’ obukadde 8.1, n’ababayambako baweebwe obukadde 6.6.
Muyomba yagambye nti ng’abakozi bonna, baasazeewo awatali kwekutulamu obutatandika kusomesa okutuuka nga basoose kwongezebwa ku ssente ze bafuna.
Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Edwin Napakor yagambye nti tebasaba kubongera ssente naye basaba kuweebwa ssente ezigya mu mulimu gwe bakola.
Abayizi abawerera ddala 8,000 abagenda okukola ebibuuzo byabwe ebyakamalirizo, be bagenda okukosebwa singa abasomesa bano bagaana okudda mu bibiina.