
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Bamusaayimuto abasoba mu 500 basimbudde ku mbuga enkulu e Bulange Mmengo neboolekera ku ssomero lya Muzza High School e Kabembe mu Kyaggwe okusobola okwetaba mu nteekateeka y’ Ekisaakaate Gatonnya ey’omwaka 2023.
Bano bakumala kumpi wiiki 3 nnamba nga babangula ku mpisa ez’obuntubulamu, okuyiga okukola emirimu, okuvumbula ebitone awamu n’okwekiririzaamu nga bino byakubayamba nnyo okutambula mu bulamu nga balina ebigendererwa n’ebiruubirirwa.

Ekisaakaate kino kigenda kubeera kya mulundi gwa 16 nga Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda agenda mu maaso n’okubangula abaana b’eggwanga nga ayita mu kitongole kye ekya Nnabagereka Development
Foundation.
Ssenkulu wa Nnaabagereka Development Foundation nga kyekiri mu nteekateeka eno, Omuk. Andrew Adrian Mukiibi agamba nti bakweyambisa Ekisakaate kino okuvumbula n’okuzuula obusobozi bw’ abaana bano bayambeko okukula nga bekiririzaamu
Abagunjuzi abakulu nga bakulembeddwamu owek. Rashid Lukwago ne Joanita Kawalya bannyonyodde nti Ekisaakaate 2023 okusinga kitunuulidde okubudaabudda abaana nokubakumakuma nga bayambibwako okuyita mu kusoomozebwa nebyabakosa mu biseera byomuggalo ate ng’ obuwangwa n’ennono nabyo tebabisudde .
Obwedda buli musaakate obwedda atuusibwa mu ku mbuga enkulu e Bulange Mmengo nga asooka kukeberwa okukakasa nti buli kyetaagisa akirina era oluvannyuma natwalibwa butereevu ku ntambula eya teereddwawo okumutuusa e kyaggwe.

Abazadde mu biti ebyenjawulo okubadde omuyimbi Mesach Ssemakula bajumbidde enteekateeka eno era mu bano abayimbi , Abakulembeze mu bwakabaka ne gavumenti eyawakati n’Abantu mi biti ebyenjawulo abaana babwe nabo babawaddeyo okubangulwa .
Bbo abaana betwogeddeko nabo batubuulidde ku bimu byebesunze okuyiga ate badde babiteeke mu nkola .

Omukungu w’essomero lya Muzza High School gyekigenda okuyindira akakasizza nti buli kimu kiteekeddwatekeddwa bulungi nga abayizi bakugannyulwamu byansuso era ono tayawukannye nebanamikago abalala okuli Finance Trust Bankt , UNDA nabalala.
Ekisaakaate eky’omulundi guno kyakutambulira ku mulamwa ogugamba nti “ Okutukiza obusobozi obukusike ku lw’enkulaakulana” nga kitandise leero olwo kikomekereze nga ennaku zomwezi 21 .









