Musasi waffe
Abasika bakubiriziddwa okukomya okukaayanira ebintu by’abazadde byabwe beba basikidde.
Obubaka buno buweereddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga wamu n’Omulangira Kassim Nakibinge.
Bano baabadde mu lumbe lw’omugenzi Hajji Nasser Lubega eyali nannyini masomero ga Kabojja Schools.
“Kirungi okufuna omusika kubanga buli maka galina okubeeramu obukulembeze okulungamya abo bebabasikidde era n’obutabajuza. Obusika bwetaaga okuwulirza n’okusala amazima ng’omusika agoberala obwenkanya. Abasika bangi baagala okukukuumba buli kantu omugenzi keyaleka nebaleka bannabwe nga bayagga,” Oweek. Mayiga bwagambye.
Agasseeko nti kikyamu n’okusindiikiriza abaana abawala nga tebaweereddwa kantu konna ku bintu by’abazadde baabwe nga bagamba nti bajja kufuna eyo gyebafumbirwa.
“Emirundi mingi twagala abasika bakole nga bebasikidde naye ekisinga obukulu kwekukuuma erinnya ly’oyo gwabaasikidde,” Mayiga bwagambye.
Mu buufu bwebumu, Omulangira Kassim Nakibinge asabye abaana ba Nasser Lubega okulema okuyuzaayuza mu by’obugagga bya kitaabwe wabula bafunemu emigabo.
“Kyamukisa mulungi nti abaana b’omugenzi musomye era mulina emirimu gyammwe gyemukola temulina nsonga lwaki mwetaaga ebintu bino. Ndowooza nti mwandironze olukiiko oluddukanya eby’obugagga byammwe naye nga biri wamu,” Nakibinge bwagambye.
Kululwe, Supreme Mufti Sheikh Siliman Kasule Ndiragwa asabye abantu okwetegekera okufa nga balongoosa emirimu gyabwe eri Katonda.
Ayogedde ku Lubega ng’eyalina omukwano omuyitirivu eri abantu.
“Allah saasira abaanabe bakule nga baafanana taata wabwe kubanga abadde muntu mulungi,” Ndirangwa bwagambye.
Nasser Lubega yafa ku ntandikwa y’omwaka guno ku emyaka 66.