• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obuwangwa

Abasika bakubiriziddwa okukomya okukaayanira ebintu by’abagenzi

Gambuuze by Gambuuze
March 9, 2020
in Eby'obuwangwa
0 0
0
Abasika bakubiriziddwa okukomya okukaayanira ebintu by’abagenzi
0
SHARES
55
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’asimba omuti

Musasi waffe

Abasika bakubiriziddwa okukomya okukaayanira ebintu by’abazadde byabwe beba basikidde.

Obubaka buno buweereddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga wamu n’Omulangira Kassim Nakibinge.

Bano baabadde mu lumbe lw’omugenzi Hajji Nasser Lubega eyali nannyini masomero ga Kabojja Schools.  

Supreme Mufti Siliman Kasule Ndirangwa ng’abuuza ku Katikkiro Charles Peter Mayiga

“Kirungi okufuna omusika kubanga buli maka galina okubeeramu obukulembeze okulungamya abo bebabasikidde era n’obutabajuza. Obusika bwetaaga okuwulirza n’okusala amazima ng’omusika agoberala obwenkanya. Abasika bangi baagala okukukuumba buli kantu omugenzi keyaleka nebaleka bannabwe nga bayagga,” Oweek. Mayiga bwagambye.

Agasseeko nti kikyamu n’okusindiikiriza abaana abawala nga tebaweereddwa kantu konna ku bintu by’abazadde baabwe nga bagamba nti bajja kufuna eyo gyebafumbirwa.

Omlangira Kassim Nakibinge asooka ku ddyo

“Emirundi mingi twagala abasika bakole nga bebasikidde naye ekisinga obukulu kwekukuuma erinnya ly’oyo gwabaasikidde,” Mayiga bwagambye.

Mu buufu bwebumu, Omulangira Kassim Nakibinge asabye abaana ba Nasser Lubega okulema  okuyuzaayuza mu by’obugagga bya kitaabwe wabula bafunemu emigabo.

Oweek. Mariam Mayanja

“Kyamukisa mulungi nti abaana b’omugenzi musomye era mulina emirimu gyammwe gyemukola temulina nsonga lwaki mwetaaga ebintu bino. Ndowooza nti mwandironze olukiiko oluddukanya eby’obugagga byammwe naye nga biri wamu,” Nakibinge bwagambye.

Kululwe, Supreme Mufti Sheikh Siliman Kasule Ndiragwa asabye abantu okwetegekera okufa nga balongoosa emirimu gyabwe eri Katonda.

Ayogedde ku Lubega ng’eyalina omukwano  omuyitirivu eri abantu.

“Allah saasira abaanabe bakule nga baafanana taata wabwe kubanga abadde muntu mulungi,” Ndirangwa bwagambye.

Nasser Lubega yafa ku ntandikwa y’omwaka guno ku emyaka 66.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist