Bya Ssemakula John
Mukono
Abalwadde abasoba mu 200 bakonkomalidde ku ddwaliro lya Mukono General Hospital oluvannyuma lw’abasawo okwediima ku Lwokuna nga bagamba nti, tebannafuna musaala gwabwe ate nga tebalina nabikozesebwa.

Bano okwekalakaasa kiddiridde munnaabwe, William Mule, okufa ekirwadde kya Ssennyiga Corona olunaku lw’eggulo ng’aggyibwa e Kiruddu okutwalibwa mu ddwaliro ly’e Mulago.
Abasawo bategeezezza nti tebakyasobola kukola ku balwadde nga tebalina bikozesebwa kuba kiteeka obulamu bwabwe buli mu matigga.
Bano abagaanye okubatuukiriza amannya, bagamba nti Disitulikiti eruddewo okubawa omusaala gwabwe ate ng’abasawo abalala mu kitundu kino baamala dda okusasulwa.
Akulira eddwaliro lya Mukono General Hospital, Geoffrey Kasirye, agambye nti ekizibu ky’emisaala okulwayo kyava ku kukyusa bukulembeze okuva mu Munisipaali okudda ku Disitulikiti.
Akkiriza nga bwe balina obuzibu bw’ebikozesebwa ate ng’abasawo balina okwekuuma kubanga bye baali baagula byaggwaawo. Wabula ategeezezza nti ali mu kwogerezeganya nabo badde ku mirimu.
Akulira abakozi ku Disitulikiti eno, Steven Mulindwa agambye nti bafuna ebikozesebwa wadde nga bibeera bitono n’asaba abasawo okukozesa ebiriwo bajjanjabe abalwadde.