Abasawo 13, abakolera mu ddwaliro ekkulu e Masaka abali ku ddimu ly’okujjanjjaba abalwadde b’ekirwadde kya COVID-19 basiimiddwa.
Okusiimibwa kuno kuddiridde okusiibulwa k’omulwadde wa coronavirus omulala.
Ono abadde musirikale wa poliisi omukyala eyafunira ekirwadde kino ku mulimu gw’ e Mutukula ku nsalo ya Uganda ne Tanzania mu disitulikiti y’e Kyotera.
Bulyomu ku bano e 13, yaweereddwa 500,000 wamu n’ettu omwabadde ebikozesebwa mu maka ebyenjawulo.
Bano, byabakwasiddwa Omubaka wa pulezidenti owa disitulikiti y’e Masaka, Herman Ssentongo era nga yakulira akakiiko akakola ku coronavirus eno.
Ssentongo yategeezezza nti bano baabadde bateekeddwa okusiimwa olw’omulimu amatendo gwebakoze ate era gwebakyakola mu kujjanjjaba abantu.
Yayongeddeko nti era bano baakola eky’obuzira webakkiriza okujjanjjaba abalwadde newankubadde baali tebannafuna bikozesebwa ebisobola okubayamba okwekuuma nabo baleme kufuna bulwadde buno.
Isabella Nyirazahawe, omujjanjjabi akulira okifo awajjanjabirwa aba COVID-19 mu ddwaliro ly’e Masaka, yategeezezza nti okusiimibwa kuno kubazizzaamu nnyo amaanyi.
Yagasseeko nti nga bbo abajjanjjabi, basanyufu nti abalwadde baabwe bawonye nga n’olwekyo kyabadde kyetaagisa okubasiima.
Nyirazahawe yayongeddeko nti okuwona k’omukyala yekka gwebabadde naye kiboongedde essuubi nti bafunye obukugu obusobola okukola ku ndwadde endala.
Doctor Mark Jjuuko omusawo okulira okujjanjjaba abalwadde ba Covid-19 yagambye abalwadde baabwe bwonna bagenda bakuba ku matu ekibawa essuubi nti bagenda bafuna obukugu obunaabasobozesa okulabirira abantu abafunye nawookeera wa ssenyiga ono.
Okusinziira ku Dr Jjuuko abalwadde abasinga abaleeteddwa mu ddwaliro lino balina obubonero obutono omuli ssenyiga, omusujju, wamu n’omutwe.
Kyokka bino byonna okusiinziira ku mukugu ono, bigenda oluvannyuma lw’ennaku ssatu ez’obujjanjjabi.
Eddwaliro ly’e Masaka lisigazza abalwadde 20 abakyajjanjjabibwa covid-19.
URN