Bya Ssemakula John
Kampala
Abasawo ba nnansi awamu n’abazaalisa abeegattira mu kibiina kya ‘Uganda Nurses and Midwives Union (UNMU)’ batadde wansi ebikola nga baagala basasulwe ssente z’ekyemisana eziwera 15,000, gavumenti z’emaze emyaka ebiri ng’ebasuubiza.
Bano era balumirizza nti bwe baali bajaguza olunaku lwabwe mu mwaka gwa 2018 nga 12 Muzigo, Pulezidenti Yoweri Museveni yabasuubiza okubawa akawumbi ka ssiringi kalimba bakateeke mu SACCO yaabwe naye n’okutuusa kati tebakalabanga.
Era bagamba nti Pulezidenti Museveni yasinziira ku mukolo gwe gumu n’ayongeza ssente z’ekyemisana kyabwe okuva ku 2000 ne zidda ku 15000 naye ate basigala baweebwa 2000.
Mu bbaluwa akulira ekibiina kya UNMU, Justus Kiplangat, gye yawandiise nga May 4, 2021, yasabye abasawo bannansi wamu n’abazaalisa n’abo ababayambako, okuteeka wansi ebikola kuba gavumenti yeeremye okutuukiriza ekisuubizo kye yakola.
“Gavumenti yatumatiza tuleme kwekalakaasa nga basuubizza okuteeka ssente zino mu mbalirira ya 2021 etandika mu mwezi gwa July naye twewuunyizza okulaba nga gavumenti yeemu eraga ng’ebya ssente zaffe ez’ekyemisana bwe tali nsonga nkulu mu kaseera kano ezitegeeza nti tetugenda kuzifuna mwaka guno.” Bwekityo ekiwandiiko kya Kiplangat eri abasawo bano mu ggwanga lyonna bwe kisoma.
Annyonnyodde nti basazeewo okwekalakaasa balage obutali bumativu olwa gavumenti okugaana okutuukiriza ekisuubizo kye yabawa emyaka ebiri emabega.
“Tugenda kuyita abasawo bannansi n’abazaalisa badde emabega waffe twekalakaasa era tutandika n’ekiro kya nga May 5 (Olwaleero). Tubasaba mudde eka okutuusa nga ssente zaffe ez’ekyemisana ziteereddwa mu mbalirira y’omwaka guno.” Kiplangat bwe yagambye.