Bya Ssemakula John
Kampala
Abasawo ku ddwaliro lya Medipal e Kololo bakakasizza nga Gen. Katumba Wamala era Minisita w’ebyenguudo bw’ali mu mbeera ennungi era asobole okwetaba mu kuziika muwala we, Brenda Nantongo, eyattiddwa olunaku lw’eggulo. Kino era kikakasiddwa omwogezi w’amagye, Brig Gen. Flavia Byekwaso, ategeezezza nga bwe boogedde n’abasawo ne bakakasa nti Gen. Katumba embeera mw’ali emusobozesa bulungi okuziika muwala we e Mukono mu Kyaggwe.
“Ng’enze mu ddwaliro era musanze asobola bulungi okunyumya bulungi. Njogedde n’omusawo n’agamba nti bajja kumukkiriza okuziika.” Byekwaso bw’annyonnyodde. Ayogerera eddwaliro lino, Martin Abooki ategeezezza nti Gen. Katumba agenda kusiibulwa mu bwangu oluvannyuma lw’okulongoosebwamu amasasi.
Gen. Katumba yakubiddwa amasasi ku mikono gye gyombi mu bulumbaganyi obwakoleddwa olunaku lw’eggulo omwafiiridde muwala we ne ddereeva we. Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa aba famire, Nantongo agenda kuziikibwa enkya ku Lwokuna e Kikandwa – Kasawo mu Mukono.
Byekwaso annyonnyodde nga bwe bagenda okwongera okunyweza eby’okwerinda mu ddwaliro Gen. Katumba Wamala mw’ali ne mu makaage.