
Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Abasawo abayamba ku badokita awamu n’abazaalisa nga bayita mu kibiina ekibagatta ki ‘Federation of Uganda Nurses and Midwives’ beekubidde enduulu eri Palamenti nga baagala etunule mu nsonga y’okubongeza omusaala.
Ekiwandiiko ky’ abasawo bano kyanjuddwa omubaka wa Maracha East, Ruth Lematia nasaba olukiiko okutwala ensonga eno nga nkulu kuba abasawo basanga ebizibu bingi ku mirimu era bakole nekunsonga y’ abasawo abali mukugezesebwa.
“ Abakugu b’ebyobulamu abasinga obungi mu ggwanga lino basawo, 70 ku buli 100 era wadde emyaka giweze nga beekalakaasa era nga amaanyi gabaggwamu olw’omusaala omutono gwebafuna naye ensonga yabwe tekolwako,” Lematia bw’annyonnyodde.
Lemati agamba nti wadde bano batendekebwa era nga bakoleredde eby’obulamu, naye ensonga yabwe gavumenti egaanye okutuukiriza obweyamo bwayo okwongeza abasawo bano ssente mu mwaka gw’ebyensimbi oguwedde naye tewali kyakolebwa nga kati ayagala Palamenti eyingire mu nsonga eno.
Ono asabye gavumenti okutereeza ensonga y’omusaala guno era nasaba gavumenti okomye okulanga emirimu gy’abasawo bano nga egaseeko eky’okuwa enkizo eri oyo abeera alina ddiguli so nga abasawo abasinga balina satifikeeti.
Ensonga eno Palamenti egyongeddeyo eri akakiiko k’abakozi ba gavumenti ne gavumenti ez’ebitundu okusobola okugitunulamu.









