Bya Ssemakula John
Kampala
Abasawo abasookerwako oba abali mu kugezesebwa mu malwaliro ga Gavumenti abaakazibwako erya ‘Intern Doctors,’ batadde ebikola wansi olw’ekisuubizo kya Pulezidenti Yoweri Museveni eky’okubongeza omusaala okugaana okutuukirira.
Ssentebe w’abasawo bano, Dr. Samuel Odong agamba nti kino kikyali kituuza wabula singa Gavumenti tekola ku bizibu byabwe, baakukunga bannaabwe yonna gye bali okulekawo emirimu.
Kinajjukirwa nti nga 6 omwezi guno, abasawo ab’ekika kino mu malwaliro ga gavumenti okuli; Kiruddu , Kawempe, Kawaala n’awalala, baatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire okutuusa okwemulugunya kwabwe mu bujjuvu.
Abasawo bagamba nti embeera eno nabo tebajagala naye esusse okubanyigiriza kuba ensimbi ze bafuna tezibasobozese kwerabirira nga kati kifuuse kizibu okufuna eky’okulya awamu n’okufuna we basula.
Bano bagamba nti batulugunyizibwa ebitongole ebikuuma ddembe okuli LDU ne Poliisi olw’okutambula mu budde bwa kafyu olw’okukozesa Ppikipiki ne basaba gavumenti ebatereereze mu by’entambula.
Atwala ekibiina ekitaba abasawo bano abasookerwako ekya Uganda Intern Doctors (UID), Lillian Nabwire agamba nti abasawo bano abali mu kugezesebwa bagwa mu biti bingi okuli abakuula amannyo, abalongoosa, abagaba eddagala n’abalala. Ensonga zaabwe eza beekalakaasirisizza mu kusooka tezikolwangako okutuusa leero okuli ebyensula, omusaala n’ebirala.
Okusinziira ku basawo bano, Pulezidenti Museveni yabawandiikira ebbaluwa nga 09/08/2021 nga yali alagidde Minisitule y’ebyensimbi, Minisitule y’ebyobulamu ne woofiisi ya Ssaabaminisita, okukola ku nsonga y’okwongeza omusaala gw’abasawo bano okuva ku mitwalo 75 zidde ku bukadde 2 n’ekitundu ate Dokita ajjudde aweebwe obukadde 5.