• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abantu basabiddwa okwettanira enkola ey’ebitaawuluzi mu kugonjoola emisango

Gambuuze by Gambuuze
September 11, 2026
in Amawulire
0 0
0
Abantu basabiddwa okwettanira enkola ey’ebitaawuluzi mu kugonjoola emisango
0
SHARES
1
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Kololo – Kyaddondo

Amyuka Ssaabalamuzi mu ggwanga Hon. Moses Kazibwe Kawumi akuutidde abantu okweyunira enkola y’ekitaawuluzi okusobozesa okugonjoola endoolito wabweru wa kkooti.

Omulamuzi Kawumi bino abyogeredde mu mwoleso ogutekeddwa ekitongole ekiramuzi oguyindidde ku kisaawe ky’ameefuga e Kololo, kkooti wezisisinkanidde abantu abaaloopayo emisango okusala empenda ku butya bwe basaanye okufuna amazima n’obwenkanya mu bwangu ddala.

Obwakabaka bwoleeseza enteekateeka ennungamu engeri kkooti zino gyezirina okutambulamu nga bukulembeddwamu Oweek. Isaac Mpanga, Abataka Abakulu Ab’Obusolya , bannamateeka ba Buganda Royal Law Chambers, Minisitule ya Gavumenti ez’Ebitundu n’abantu abalala.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, musanyufu nnyo olw’ekitongole ky’essiga eddamuzzi okuyita Obwakabaka okwolesa obulamuzi bwebukola okumala emyaka kumpi 800 era agamba nti mu Buganda waliwo kkooti za mirundi ebiri; ez’ebika (okuva mu nnyumba okutuuka ku kkooti ya Salambwa eya Ssaabasajja) n’ekkooti ezitambulira mu baami ba Ssaabasajja Kabaka okuviira ddala ku mutongole w’ekyalo okutuuka ku Katikkiro.

Omutaka Namwama agamba nti Obwakabaka bwakosebwa nnyo kkooti z’Abazungu kubanga emisango emitono okugeza obusambattuko mu maka bisaanidde okudda mu kkooti zzi nansangwa. Akulira kkooti ya Kisekwa Omuk. Dr. Robert Ssonko Kanaakuloopa, nga y’akulira eddiiro lya Kisekwa agamba nti ekkooti eno etunuulira nnyo obusika naddala ensonga eziva mu Bika bya Baganda n’abo abaleeta okujjulira kwabwe nga tebamatidde nsala era ono agamba nti ekkooti eno eriko ne bannamateeka babiri okusobola okubalungamya obutakuubagana n’amateeka agafuga eggwanga.

Omwami w’esaza Kyaddondo Kaggo Ssaalongo Magandaazi Matovu, musanyufu okwetaba mu kwolesa engeri kkooti y’Omuganda gyeyatambulangamu ekigenda okuyamba gavumenti okujjamu enkola ya kkooti okukwatagana n’ezo ezaliwo edda. Omukolo guno gwetabiddwako ebikonge okuva mu ssinga eddamuzi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist