• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abantu bakooye Bannabyabufuzi abakoma okulabika mu Kalulu – Minisita Kazibwe

Gambuuze by Gambuuze
August 28, 2025
in Amawulire
0 0
0
Abantu bakooye Bannabyabufuzi abakoma okulabika mu Kalulu – Minisita Kazibwe
0
SHARES
201
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Okuva ku kkono ye Bbira Henry Kisakye Ssentebe w’Ekisinde ki Republican Front, wakati ye Minisita Isael Kazibwe Kitooke ate ku ddyo ye Ssenoga Elvis, Ssaabawandiisi wa Republican Front

Bya Miiro Shafik

Mmengo – Kyaddondo

Bannakisinde ki Republican Front bakiise Embuga mu Bulange e Mengo ne beyanjula n’enteekateeka ze balina mu by’obufuzi bya Uganda.

Ku lwa Katikkiro, Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke y’asisinkanye Bannakisinde ki Republican Front okubadde Bbira Henry Kisakye Ssentebe waakyo ne Ssenoga Elvis, Ssaabawandiisi.

Owek. Kazibwe mu bubaka bwe bano asoose kubajjukiza nti Ssaabasajja Kabaka yakubirizza abavubuka okwetaba mu by’obukulembeze n’okulwanirira omugabo gwa Buganda bwatyo n’abeebaza okwesowolayo okuvuganya, kyokka abasabye ke basazeewo okubiyingira babeere bamalirivu n’obwerufu mu byonna bye bakola, baleme kuva ku mulamwa era bagoberere obubaka bwa Beene buli kiseera.

Minisita Kazibwe bano abeebazizza olw’ebirowoozo bye balina mu bukulembeze obulimu okugabana obuyinza (Federo) bw’agambye nti Buganda twakomyanga kubulwanirira kubanga buyamba buli kitundu okwekolera ku nsonga zaakyo olwo eggwanga ne likulaakulana. Abasabye okulondoola amakubo mabi, ebyobujjanjabi ebitali birungi, ebyenjigiriza n’ebirala kibayambe okukola ku nsonga eziluma abantu

“Mufeeyo nnyo ku nsonga eziruma abantu, kubanga baweddemu essuubi eri Bannabyabufuzi, anti buli afuna obukulembeze n’obuyinza taddamu kuwuliriza bantu baamulonda, kino kireseewo okuyaayana mu bantu okufuna abakulembeze ab’ensa” Minisita Kazibwe

Minisita Kazibwe bano abeebazizza okukiika Embuga era n’abaagaliza okuvuganya obulungi nga tebeerabidde nsonga zikwata ku bantu.

Ssentebe w’ekisinde kino Bbira Henry Kisakye ategeezeza nti ensonga enkulu abaleese Embuga kwe kwanjula enteekateeka zaabwe ze balina mu byobufuzi bya Uganda era n’okusaba okutambula n’Obwakabaka mu buweereza bwabwe. Ategeezeza nti batunuulidde okusoosowaza ensonga ezikwata ku bantu n’okuweereza obulungi abantu. Ono era ategeezeza nti ate baakwongera okusoosowaza ensonga za Buganda singa baweebwa obukulembeze.

Bbira asabye Bannabyabufuzi banne naddala ebibiina okuleeta Bannabyabufuzi abategeera ebitundu bye baagala okukulembera, ono akikaatiriza nti oyo ategeera ekitundu era y’asobola okukiweereza obulungi. Bwatyo asuubiza nti bbo nga Banna-Republican bakuteeka abakulembeze ab’enjawulo okuvuganyiza mu bifo gye bava era bye bategeera obulungi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.