Bya Huzair Jjuuko Wasajja
Ssaza Buddu
Katikkiro agguddewo omwoleso gwa cbs Pewosa n’omulanga eri aboolesa okugatta omutindo ku bye bakola.

Agamba nti kaweefube w’okusitula omutindo yatongozebwa n’ekigendererwa eky’okufuna ekintu ekisembayo obulungi mu bikolebwa abantu baleme kutengejjera busa, mu buwufu obwo mw’asinzidde n’abategeeza nti nga baagala okufuna mu bye bakola, basaana okubigattako omutindo beewale okufiirizibwa.
Minisita w’Obulimi, Obulunzi n’obwegassi, Oweek Hajji Amisi Kakomo Mukasa, annyonnyodde nti minisitule gy’akulembera bulijjo eruubirira okujja abantu ba Kabaka mu bwavu nga bayita mu bulimi, obulunzi, n’obwegassi, era kino kituukiridde bwogeraageranya n’ebintu eby’oleseddwa nga n’okunoonyereza okwakolebwa ekitongole ky’obwakabaka eky’ebibalo ki Buganda Statistics Unit, kulaga nti abantu ba Kabaka bongedde okuyingiza ejjamba mi nsawo zaabwe era basobola okusomesa abaana, okusasulira obujjanjjabi mu malwaliro, n’okuvuga ebidduka eby’omulembe.

Omwami w’Essaza Buddu, Pookino, Oweek Jude Muleke, yebazizza CBS Laadiyo olw’okutegeka omwoleso guno oguyambyeko okubangula abantu mu bintu ebitali bimu ebigenderera okugoba obwavu, era abasabye bateeke mu nkola ebyo bye bayize kubanga ensonga y’okugoba obwavu mu bantu eviira ddala mu nnamutayiika w’Obwakabaka okulaba nga abantu bava mu bwavu basobole okuweereza Kabaka nga abalamu era nga balina ssente.

Omwoleso guno gwa kukulungula ennaku 7 mu kibangirizi ky’e mbuga y’e Ssaza Buddu. Minisita wa Kabineeti, Olukiiko n’ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, Oweek Noah Kiyimba, abakiise mu lukiiko lwa Buganda, Oweek Sheikh Swaibu Bwanika, Oweek Mulindwa Nakumusana, Oweek Bbaale Mugerwa, n’abakungu ba Kabaka ab’enjawulo, bakyaddeko mu mwoleso guno.
Amatendekero ga Ssaabasajja Kabaka okuli erya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education Kakeeka mengo ne Muteesa I Royal University nago golosezza.










