Bya Ssemakula John
Bulange -Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asabye abantu ba Kabaka bonna okwongera okwekuuma nga balamu bulungi ate n’okwewala okwetaba mu bikolwa ebimenya amateeka kibayambe okwekulaakulanya.
Bino bibadde mu bubaka bwa Katikkiro Mayiga bw’atisse Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika era ng’ono abuwadde abantu b’Omutanda Olwaleero ng’abatikkula oluwalo mu Bulange e Mmengo.
“Ssennyiga omukambwe bw’azze afudde olutalo lw’okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya okubeera omuzibu okulwanyisa, n’olwekyo omulanga gwa Ssaabasajja ogw’okwetangira Mukenenya mugweyunire nnyo.” Owek. Bwanika bw’agambye.
Ono abasabye okukuuma emirembe wakati mu bbugumu ly’ebyobufuzi ebigenda mu maaso era basse ekitiibwa mu ndowooza z’abantu abalala kubanga abantu bonna tebasobola kuwagira kintu kimu.
Owek. Bwanika asabye abantu ba Kabaka okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka ezigendereddwamu okuggya abantu b’Omutanda mu bwavu era bafube okukuuma amateeka naddala mu kaseera kano aka Vvaawo Mpitewo.
Ono agambye bannabyabufuzi okumanya nti e Mmengo baaniriza buli muntu awa Ssaabasajja Kabaka ekitiibwa n’ensonga ssemasonga ettaano era ng’abantu ekikula kino be balina okuweebwa obululu.
Oluwalo olutikkuddwa luvudde mu masaza ag’enjawulo okuli; Ssingo; Bulemeezi, Buddu ne Kyaddondo era nga bano bawaddeyo oluwalo lw’ensimbi ezisobye mu bukadde 24.
Ate bo abaami ba Kabaka abakiise embuga nga bakulembeddwamu Kaggo, Owek. Agnes Nakibirige Ssempa, basiimye Obwakabaka olw’okufaayo okutumbula embeera z’abantu nga buyita mu nteekateeka ezitali zimu.
Owek. Nakibirige yeeyamye okwongera okukunga abantu ba Beene okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka ng’Oluwalo basobole okutuusa Buganda ku ntikko.
Omukolo guno gwetabiddwako bannabyabufuzi, abeegwanyiza ebifo ebyenjawulo era nga bano beeyamye okulwanirira ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano, era bayambe okukyusa obulamu bw’abantu mu Buganda.