• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'Obulamu

Abantu ba Kabaka basabiddwa okwekuuma nga balamu

Gambuuze by Gambuuze
December 8, 2020
in Eby'Obulamu
0 0
0
Abantu ba Kabaka basabiddwa okwekuuma nga balamu
0
SHARES
79
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange -Mmengo

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asabye  abantu ba Kabaka bonna okwongera okwekuuma nga  balamu bulungi  ate n’okwewala  okwetaba mu bikolwa ebimenya amateeka kibayambe okwekulaakulanya.

Owek. Bwanika nga akwasa omu ku basajja b’Omutanda Satifikeeti

Bino bibadde mu bubaka bwa Katikkiro Mayiga bw’atisse Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika era ng’ono abuwadde abantu b’Omutanda Olwaleero ng’abatikkula oluwalo mu Bulange e Mmengo.

“Ssennyiga omukambwe bw’azze afudde olutalo lw’okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya okubeera omuzibu okulwanyisa, n’olwekyo omulanga gwa Ssaabasajja ogw’okwetangira Mukenenya mugweyunire nnyo.” Owek. Bwanika bw’agambye.

Ono abasabye okukuuma emirembe wakati mu bbugumu ly’ebyobufuzi ebigenda mu maaso era basse ekitiibwa mu ndowooza z’abantu abalala kubanga abantu bonna tebasobola kuwagira kintu kimu.

Owek. Bwanika asabye abantu ba Kabaka okujjumbira  enteekateeka z’Obwakabaka ezigendereddwamu okuggya abantu b’Omutanda mu bwavu era bafube okukuuma amateeka naddala mu kaseera kano aka Vvaawo Mpitewo.

Ono agambye bannabyabufuzi okumanya nti e Mmengo baaniriza buli muntu awa Ssaabasajja Kabaka ekitiibwa n’ensonga ssemasonga ettaano era ng’abantu ekikula kino be balina okuweebwa obululu.

Oluwalo olutikkuddwa luvudde mu masaza ag’enjawulo okuli; Ssingo; Bulemeezi, Buddu ne Kyaddondo era nga bano bawaddeyo oluwalo lw’ensimbi ezisobye mu bukadde 24.

Ate bo abaami ba Kabaka abakiise embuga nga bakulembeddwamu Kaggo, Owek. Agnes Nakibirige Ssempa, basiimye Obwakabaka olw’okufaayo okutumbula embeera z’abantu nga buyita mu nteekateeka ezitali zimu.

Owek.  Nakibirige yeeyamye okwongera okukunga abantu ba Beene okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka ng’Oluwalo basobole okutuusa Buganda ku ntikko.

Omukolo guno gwetabiddwako bannabyabufuzi, abeegwanyiza ebifo ebyenjawulo era nga bano beeyamye okulwanirira ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano, era bayambe okukyusa obulamu bw’abantu mu Buganda.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist