
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Akulira olubiri lwa Kabaka olw’e Mengo era Senkulu w’ekitongole ki REXBA, omukungu Robert Ssewava asabye abantu ba Kabaka okubeera obulindaala n’okwang’anga abasekeeterera Obwakabaka n’okukola kyonna okulwanirira Nnamulondo n’ekitiibwa kyaayo.
Okusaba kuno Omuk. Ssewava akukoledde mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu bw’abadde atikkula Amakula okuva mu ggombolola ya Ssaabagabo Ngogwe abavudde e Kyaggwe.
Omuk. Ssewava abantu ba Kabaka abasabye okwewala abantu abeerimbika mu kwagala ennyo Kabaka ate nga bebalabe ba Buganda abasooka era abaagala okugikuba ekiggwo.
Omukungu Ssewava era asabye abazadde okunnyiziza abaana mu byenjigiriza naddala nga babaagazisa amasomo ga Sayaansi ne Tekinologiya basobole okuweebwa enkizo mu kisaawe ky’emirimu.

Ye Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka Omuk.Moses Luutu avumiridde ebikolwa bya kiwambabantu n’okukwata abantu mu ngeri etagoberera mateeka ebikyalemedde mu ggwanga nasaba abakwatibwa okukola ekisoboka okutaasa ekifaananyi ky’ eggwanga nga bamalawo ebikolwa bino.
Eyakulembeddemu abakiise embuga era Omwami wa Kabaka ow’eggombolola Ssaabagabo Ngogwe, Omulangira Kimera Rashid anokoddeyo obwavu nga ekimu ku bisoomoza ekitundu kyabwe ekiviiriddeko abamu okwennyigira mu bikolwa ebyobumwnnyi bwamateeka.
Ssentebe w’Eggombolola ya Ngogwe mu gavumenti eyawakati, James Mbalule agamba nti nga abakulembeze mu gavumenti eyawakati bakunnyikiza enkolagana gyebalina ne gavumenti ya Kabaka wamu n’okusoosowaza enteekateeka zonna.









