Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Obukadde obusukka mu 42 bwe buleeteddwa abantu ba Ssaabasajja Kabaka okuva mu masaza 3; Busiro, Bulemeezi ne Bungereza mu luwalo olutikkuddwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwagga Mugumbule mu bimuli bya Bulange.

Ku lwa Katikkiro, Oweek. Mugumbule atenderezza nnyo abantu ba Ssaabasajja Kabaka ababeera ebweru wa Buganda baayogeddeko nga abakiise ba Buganda abalaga abalala ekyo Buganda kyeri, nga kino kirabikira mu mirimu gyebakola, enneeyisa n’obuwangwa bwabwe.
“Okuyigiriza abaana baabwe Olulimi Oluganda n’okukuuma eby’obuwangwa nsonga nkulu nnyo kubanga eggwanga bweritandika okuseebengerera, tubaayo n’abantu abatuwaniridde mu nsi ez’ebweru,” Oweek Mugumbule.
Oweek Mugumbule agamba ensonga ya Luwalo lwaffe ya buwangwa na nnono za Buganda era oli bwava eri yonna gyawangaalira asaanidde okujja nga alina kyakiise nakyo okusobola okuwagira emirimu egikolebwa Embuga.
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Oweek. Joseph Kawuki yebazizza abantu ba Kabaka okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka zonna ezitunulidde okuzza Buganda ku ntikko. Bano abakubirizza okuddayo okukwata ku banaabwe okwongera okutegera ensonga z’Embuga.
Omugabe w’olunaku, Dr. Grace Steven Sseruyange, nga ye Mumyuka Asooka owa Ssebwana, asabye abantu ba Kabaka okuddayo bayigirize abalala ku nteekateeka ezikolebwa Obwakabaka bazifunemu eky’okuyiga.
Omumyuka Owookubiri ow’Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka owa UK ne Ireland (atwaala ebendobendo lya South ne West England) Muky. Janet Nabatta Mukiibi annyonnyodde nti essaza lino lisenvudde nga kati bekumyekumye okusobola okwekolamu omulimu ku bintu ebibazimba ebweru w’eggwanga era basobodde okukungaanya abavubuka emiti emito 200 abakola emirimu gya tekinologiya okusobola okubalungamya ku ntambuza y’emirimu ebweru gye babeera.
Eggombolola ezivudde mu masaza kubaddeko; Ssaabaddu Katabi, Mutuba V Nakiwogo ne Mutuba IV Entebbe Lunnyo okuva e Busiro nga baleese obukadde 21, Mutuba V Wabusaana okuva e Bulemeezi n’obukadde 3,900,000, awamu ne Bungereza abaleese 17,227,075.









