
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Abantu ba Ssaaabasajja Kabaka bakubiriziddwa okubeera obulindaala ku mbeera erimu eggwanga nga obubenje awamu n’ebikolwa by’ ettemu bisusse mu ggwanga.
Okusaba kuno kukoleddwa, Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Omuk. Moses Luutu, bw’abadde atikkula Amakula okuva mu ggombolola ya Mutuba I Nangabo abavudde mu ssaza lye Kyaddondo.
“Mwegendereze nga mutambula, ettemu lingi, obubenje bungi n’obubbi bungi naye buvudde ku badingidi n’abagoma byebayimbyeko. Ebintu byekanamye ate akasente tekaliiwo, abantu banoonya ssente,” Omuk. Luutu bwe yagambye
Ono era asabye abaami okwongera okuteeka munkola ekiragiro kya Ssaabassajja Kabaka okulaba nga balwanyisa akawuka ka Mukenenya kyokka nabafalasira okwenyigira mu misinde Mubuna byaalo egijja.

Omwami wa kabaka omulamulirako egombolola eno, Ssaalongo Kigonya Luswata Robert alaze okusomozebwa okuli mukitundu kyabwe naddala bakyaala kimpadde abegumbulidde okusanyaawo ebifo byettaka ebyenkizo mukitundu kino.
Omumyuuka wa Kaggo owokubiri Bakulumpagi Ronald akubirizza abantu okwongera okuba abakozi okulaba nga beegobako obwavu kwosa nokwongera okulabirira Kabaka kuba buvunaanyizibwa bwabwe.
Bannabyabufuzi abetabye ku mukolo guno nga bakulembeddwamu Mmeeya we Kasangati Tom Muwonge kwosa nakulira basipiika bamagombolola mu Buganda Mukisa Patrick beeyamye okukolaganira awamu n’Obwakabaka ngabakola obuweereza bwabwe mukitundu kino.
Omukolo guno gwetabidwako abaana b’amasomero, Bannabyabufuzi,Omumyuka wa Kaggo owokubiri ,Banaddiini kwosa nabantu abalala. Amakula agaleeteddwa mubaddemu ebisolo, Emmere ,Enku, enjulu kwosa n’ebintu ebirala.









