Bya Ssemakula John
Kampala
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Buganda okukolera awamu ne Ssaabasajja kabaka okulaba ennono n’obuwangwa mu buganda byongera okutumbulwa naddala mu bavubuka.
Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde kyalo Banda Kyandaaza mu ssaza Kyaggwe bw’abadde yeetabye mukwabya olumbe lwa musajja wa kabaka munnamateeka Omuk. Peter James Nkambo Mugerwa.
“Kyeetaagisa buli muntu waali alwanirire ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano, temwekomoma temukikwatire nsonga era temwekomoma,” Katikkiro Mayiga bw’agambye.”
Mukuumaddamula Mayiga agamba nti emirundi mingi abaganda basuulawo ennono n’obuwangwa bwabwe nebabisikiza enzikiriza endala enkola gyagamba nti si ntuufu.
Omukolo guno gwatandise nakulaga musika w’Omukungu James Peter Nkambo Mugerwa era gwakulembeddwamu Katikkiro w’essiga lya Jumba mukika ky’ekima omutaka Ssali Nagawonye Micheal Nkambo Mugerwa y’asisse.
Oluvannyuma basabidde omusika era kukulembdwamu omulabirizi w’obulabirizi bwe Mukono eyawummula Eria Paul Luzinda asinzidde wano nasaba abantu okudda eri omutonzi.
Owek. Mayiga asabye abantu okukola emirimu egileka omukululo nga omuk Peter James Nkambo Mugerwa gweyaleka ku kitongole kya Buganda Land Board ekivunaanyizibwa ku ttaka ly’obwakabaka.
Ku mukolo guno Owek. Mayiga awerekeddwako Minisita wa Buganda ow’emirimu egy’enkizo David Mpanga, owek. Apollo Makubuya,Ssekiboobo Elijah Bogere Mulembya saako n’abakulembeze abalala mu gavumenti ya Kabaka.
Abantu abenjawulo nga bakulembedwamu omukulu w’ekika ky’ekima omutaka Mugema Nsejjere bebaziza omugenzi olwokulekawo omukulu omulungi ogutagenda kusaanawo.