
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Abantu abawangaalira mu Bwakabaka bwa Buganda basabiddwa bantu ba Buganda okwewayo n’okukozesa obuzira okulwanirira Buganda nga bajjajjaffe bwebayolesa okusobola okukuuma ekitiibwa kya ekyegombesa abangi.
Okusaba kuno kukoleddwa akulira Olubiri lwe Mmengo era Ssenkulu w’ekitongole ki REXBA, Omuk. Robert Ssewava ku Lwokusatu bw’abadde atikkula Amakula ga Beene okuva mu bantu be Buddu ne Kyaggwe.
Omuk. Ssewava naasaba abantu ba Buganda okuba abasaale nokumalirira okukuuma ekitiibwa kya Buganda nga bajjajjaffe abasooka webakolanga okunyweza Nnamulondo.
Omuk. Ssewava era asabye abantu okuba abakozi ennyo beekulaakulannye okukyusa embeera yabwe olwo ne Buganda lwegya okudda ku ntikko.

Munnabyanfuna Simon Ssenkaayi bano abasibiridde entanda y’okuddamu okunyweza ennono nobugunjufu Buganda gweyazimbibwa Obwakabaka okwongera okuggumira.
Abaami b’Eggombolola okubadde Ssaabaddu Ntenjeru Bbaale, Alex Bernard ne nowa Mutuba 21 Lwabenge, Nsibambi Frank bategeezezzza nga bwebasomoozebwa enguudo embi, ebyenfuna ebigootagana buli ddakiika ebibalemesezza okulaakulana obulungi.









