• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abantu 500 bokka be bayitiddwa okuziika Ssaabasumba Lwanga

Gambuuze by Gambuuze
April 7, 2021
in Amawulire
0 0
0
Abantu 500 bokka be bayitiddwa okuziika Ssaabasumba Lwanga
0
SHARES
99
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Stephen Kulubasi

Kampala

Enteekateeka z’okuziika Ssaabasumba wa Kampala, Dr. Cyprian Kiziito Lwanga nga zigenda mu maaso, Ekereziya Katolika evuddeyo n’etegeeza nti abantu 500 bokka be bagenda okukkirizibwa okuziika era nti bano baamaze dda n’okutegeezebwa ku nteekateeka eno.

Ssaabasumba Lwanga agenda kuziikibwa nkya munda mu Ekereziya ya Lubaga wabula abakulu ba Ekereziya bategeezezza nti okusalawo ku muwendo gw’abantu kyakoleddwa okusobola okutangira ensaasaana ya Ssennyiga kolona.

“Tukimanyi nti buli muntu alina eddembe okukungubaga era tewali asaana kulimuggyako mu buli mbeera wabula waliwo abantu abalondeddwa Ekereziya n’aboobuyinza mu Gavumenti. Abo be bagenda okukiikirira ffe abalala olw’okuba nti tuli mu biseera bya Ssenyiga Kolona.” Rev.Fr. Nicholas Mulumba omwogezi w’Obusumba bwa Kampala bw’ategeezezza.

Rev.Fr Mulumba era ayongedde n’atangaaza ku nsonga eno nti tewali kya njawulo kyesigamiziddwako okulonda abantu abagenda okuziika okuggyako okuba nti bakulisitu ate nga beebo abalina akakwate akaamaanyi ku mugenzi.
Ono yeegattidwako omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Oweyesigire, akkaatirizza nti bagenda kubeera bulindaala nnyo ku nsonga y’okutangira ekirwadde kya Kolona okusaasaana era n’asaba abakungubazi okukakasa nti bambala obukookolo bwabwe.

Ono era alabudde nti wagenda kubaawo okutataaganya eby’entambula naddala ku nguudo ezolekera Ekereziya ye Lubaga. Wano agambye nti abavuzi ba boodabooda tebagenda kukkirizibwa ku nguudo zino okuggyako nga balina ebipapula (stickers) ate nga nabo bagenda kulambikibwa enguudo ze banaakozesa.

Ssaabasumba Lwanga yasangibwa mu kisenge kye ng’afudde ku Lwomukaaga kumakya ng’entabwe yava ku kirwadde kya mutima. Ono yafiiridde ku myaka 68, wabula ng’abadde Ssaabasumba okumala emyaka 15.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist