Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti e Masaka eriko abantu abawera 10 b’esindise ku alimanda ku bigambibwa nti balina kye bamanyi ku ttemu erigenda mu maaso mu ttundutundu ly’e Masaka erifiiriddemu abantu abasoba mu 20.
Bano ku Lwokusatu basimbibwa mu maaso g’Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Masaka, Charles Yeteise era nga be bamu ku bantu 68 abaabadde bakwatiddwa ne basunsulwa era bavunaaniddwa omusango gw’obutemu.
Kigambibwa bano be bamu ku bibinja ebirumba abantu mu kiro n’ebijambiya ne babasanjaga ekikontana n’akawaayiro nnamba 188 ne 189 aka Penal Code.
Abakwate olw’okuba emisango gye bazza minene egiwulirwa kkooti enkulu yokka bagaaniddwa okubaako kye boogera.
Bw’atyo omulamuzi Yeteise kwe kubasindika ku alimanda mu kkomera lya Ssaza Government Prison okutuuka nga September 15 lwe banadda okusomerwa emisango gyabwe oluvannyuma lw’omuwaabi wa gavumenti okutegeeza nti okunoonyereza ku misango gyabwe kukyagenda mu maaso.
Kinajjukirwa nti eggulo ku Pulezidenti Museveni yategeezezza ng’abantu abali emabega w’ettemu lino bwe bagenda okukwatibwa bavunaanibwe.
Mu ngeri yeemu Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga, Gen. David Muhoozi yategeezezza Palamenti ku Lwokubiri nti abakola ettemu lino balina akakwate n’obutujju.
Okusinziira ku Muhoozi, abatemu bano bakikozesa kuteeka okutya mu bantu awamu n’okubatemula kiraga nti bano beeyisiza ddala ng’abatujju kuba nabo bakozesa enkola zino ze zimu.