Bya Stephen Kulubasi
Masengere – Mmengo
Abadde Mmeeya wa Lubaga era Minisita omubeezi ow’amawulire ne Tekinologiya, Owek. Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwawo, alabudde bakama be abaamuwadde ekifo ky’obwaminisita nti singa banaalemwa okumuwuliriza ajja kulekulira.
Okulabula kuno, Owek. Nabbosa yakukoledde ku Masengere bwe yalabadde awayaamu ne bannamawulire ku ntandikwa ya wiiki eno.
“Njagala abampadde obukulu buno bampulirize bwe nnaabaako ne bye njagala kubanga nze saabubasaba era simanyi bwe baabironda. Nze saagala mivuyo era nabo bakimanyi. Noolwekyo bwe nnaalaba nga tebampuliriza nga ndekulira.” Owek. Ssebuggwawo bwe yagambye.
Owek. Ssebuggwawo agamba nti okusinga nti wakutalaaga mu bantu, amanye ebizibu byabwe kuba kisinga okutuula mu woofiisi, kimuyambe okumanya ebizibu byennyini ebiruma abantu.
Ono agamba nti ebimu ku bintu by’agenda okufaako kwe kulaba ng’asitula omutindo gwa bannamawulire era abasembeze ku mwanjo era basobole okunyweza obumu, okusobola okutuuka ku bintu ebinene n’okufuna omusaala okutandikirwako.
Minisita Ssebuggwawo awakanyizza ebigambibwa nti alina obutakkaanya n’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) n’agattako nti bannakibiina abasinga obungi bali mabega we wadde nga tasobola kubasanguza.
Ono era alabudde bannabyabufuzi abamwogerera amafuukuule nga bamunenya okutwala ekifo kino kye bayita okubalyamu olukwe, kyokka nga nabo ebifo bye balimu nabyo bigwa mu gamu ku masiga agakola gavumenti.
Owek. Nabbosa asabye bano okuva mu by’obufuzi ebyekito naye bakolere abantu kuba gwe mulamwa omukulu essaawa eno.