Kampala
Munnakenya ‘Blogger’ eggulo yafulumizza obubaka nga bulaga ng’omuduumizi w’eggye ly’okuttaka, Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba era mutabani wa Pulezidenti Yoweri Museveni, bw’ali e Kenya ng’ajjanjabibwa era nti ali mu mbeera mbi.
Wano bannayuganda naddala ku mutimbagano baabuukidde eggulire lino era ne balyongerayo.
Kino kyawalirizza Gen. Muhoozi okuvaayo n’ategeeza nti guno si gwe mulundi ogusoose ng’abalabe be bamubika.
Muhoozi nga y’abadde aduumira eggye erikuuma Pulezidenti Yoweri Museveni, agamba nti eby’okumubika yabitegeeredde ku mukwano gwe era omukozi wa BBC, Allan Kasujja.
“Abamu ku mikwano gyange nga Kasujja bang’ambye nti abamu ku balabe bagamba nti nafudde, abalala nti ndi mulwadde muyi oluvannyuma lw’okulumbibwa ekirwadde kya COVID-19. Ndi bulungi. Guno gwe mulundi gwange ogwokusatu nga bambika naye ekisesa buli lwe bakola kino ate Katonda annyogera mikisa na buwangaazi.” Muhoozi bwe yagambye ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Twitter.
Bannayuganda naddala abali ku mutimbagano ennaku zino beegumbulidde okusaasaanya amawulire ag’obulimba era gyebuvuddeko Katikkiro Charles Peter Mayiga yasaba abantu ba Kabaka obutamala gagendera ku mawulire gali ku mutimbagano naye beesige emikutu emitongole egy’Obwakabaka.
N’olunaku lw’eggulo era waliwo amawulire agafulumye nga galaga nga Pulezidenti Museveni bwe yatwaliddwa mu ddwaliro ng’ali mu mbeera mbi naye ate oluvannyuma ono n’alabikira e Munyonyo ng’ali mu lukung’aana lw’ebyobulamu olw’ensi yonna olwategekeddwa ssettendekero wa Makerere.
Era mu ngeri yeemu waliwo ababise omugagga nannyini wooteeri ya Africana, Hajji Bulayimu Muwanga Kibirige (BMK) naye oluvannyuma ne kizuuka nti ono akyali mulamu bulungi.