Bya Musasi Waffe
Kampala
Ekitongole ky’amakomera mu ggwanga kitegeezezza ng’abamu ku bantu abagambibwa okutulugunyizibwa oluvannyuma lw’okukwatibwa nga balumbye Gen. Katumba Wamala bwe bali mu kujjanjabwa mu ddwaliro ly’ekkomera e Kitalya gye baasindikiddwa ku alimanda wiiki eyise.
Abamu ku bantu bano abawera bataano, ku Lwokuna bwe baali mu kkooti baalaga ebimu ku biwundu bye baafuna bye bagamba nti byabatuusibwako bakuumaddembe oluvannyuma lw’okukwatibwa mu bulumbanyi bw’amasasi ku Gen. Katumba Wamala obwaleka nga Brenda Nantongo ne Haruna Kayondo babufiiriddemu.
Bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku Mmande, omwogezi w’ekitongole ky’amakomera, Frank Baine, yakakasizza nga bano bwe bali mu kujjanjabwa.
“Kkooti wiiki ewedde yabasindika e Kitalya basobole okujjanjabwa era buli kimu ekisoboka kikolebwa okugoberera ekiragiro kino, era embeera yaabwe etereddemu era olugendo lw’obwenkanya lukyagenda mu maaso.” Baine bw’agambye.
Baine agamba nti wadde amateeka agabafuga tegabakkiriza kukkiriza basibe batulugunyizibwa naye agamba nti mu mbeera ya bano baali basobola okugikwasaganya.
Abakwate bano nga bayita mu munnamateeka waabwe Geoffrey Turyamusiima, Ssabbiiti ewedde baasaba kkooti ebayimbule basobole okujjanjabwa, ekintu omulamuzi kye yagaana.
Ku kino, Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Nakawa, Dr. Douglas Singiza, bano yabagamba nti talina buyinza bubayimbula wabula n’abasindika ku alimanda e Kitalya era n’alagira abatwala ekkomera lino okubeekebejja era babajjanjabe awamu n’okukola alipoota gye bagenda okudda nayo mu kkooti.
Bano okuli; Muhammad Kagugube, Siriman Kisambira, Abudallah-Aziz Ramadhan Dunku, Kamada Walusimbi ne Habib Ramadhan Marjan, bavunaanibwa emisango omuli; obutujju, obutemu awamu n’okugezaako okutemula omuntu.
Abavunaanwa bano baakudda mu kkooti nga August 13, 2021 wabula ab’ebyokwerinda bakyali mu kattu oluvannyuma lw’okusongebwamu olunwe ku by’okutulugunya abantu bano, ekikontana n’amateeka.