
Bya Ssemakula John
Nsangi – Busiro
Minisita w’Obuwangwa, n’Obulambuzi n’Embiri, Owek. David Kyewalabye Male asabye abalung’amya b’emikolo okwongera okunyweza ennono y’okwanjula okusobola okugitaasa ku kusaanawo.
Owek. Kyewalabye obubaka buno yabuwadde ku Lwokusatu nga ali wamu n’Omukubiriza w’olukiiko lw’ Abataka, Nnamwana Augustine Kizito Mutumba ku mukolo gw’olunaku lw’Abalung’amya b’emikolo mu Buganda mu ggombolola ya Ssaabagabo Nsangi.
Minisita Kyewalabye abalambise okukola enteekateeka ebangula abagole ku nsonga z’obufumbo era bakakasa nti abagole kyebayingiramu bakitegeera.

Ono era yabasabye okukoma okukopereza ne katemba ayitiridde kuba kino kiwa ekifananyi ekikyamu.
Ye Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Nnamwama Augustine Kizito Mutumba abalung’amya bulijjo abasabye okunoonya okumanya ku nsonga z’obufumbo awamu n’okwanjula era bafune okulambikibwa okuva mu biwandiiko ebitongole eby’Obwakabaka.
Ssentebe w’Abalung’amya Omw. Isma Kajja, yeebazizza nnyo Obwakabaka olw’okubayambako okusitula omutindo gwabwe era yaweze okwongera okunyweza ennono y’emikolo gy’okwanjula entuufu.
Abakulu basimbye emiti egy’ekijjukizo ku Ggombolola e Nsangi ne Pamville Nursery & Primary School, okulambula omwoleso n’olusiisira lw’ebyobulamu era basiimye nnyo enteekateeka yonna.

Omukolo gwetabiddwako Oweek. Kayiwa Steven, Ssenkulu wa Global Paints era Omuyima w’abalung’amya Owookubiri, Mayor w’e Nsangi Mathias Walukagga, Omwami w’Eggombolola Ssaabagabo Nsangi Omuk. Wasswa Mathias Kutanwa, Abaami ba Ssaabasajja mu Ssaza Busiro, abaluŋŋamya okuva mu Masaza gonna, abayizi okuva mu Masomero ag’enjawulo n’abatuuze.









