
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Minisita w’ebyobuwangwa, ennono, obulambuzi, embiri, olulimi n’ebyokwerinda mu Buganda, Owek. David Kyewalabye Male alabudde abalung’amya b’emikolo ku kwekkiriranya nga bakola emirimu gyabwe.
Bino Minisita Kyewalabye abyogeredde mu musomo gw’ennaku ebiri ogw’okubangula abalung’amya bano oguyindidde mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu.
“Obwakabaka bumanyi amaanyi n’obusobozi bwammwe, kubanga muwaniridde Oluganda n’ekitiibwa kya Buganda nga tewali abatendese nga mukikola ku lwammwe. Naye bwe wabaawo ebitatambula bulungi, kitukakatako ng’Obwakabaka okuvaayo okubalambika”. Oweek. Kyewalabye ayongedde okukkaayiriza obwetaavu bw’okusomesa aboogezi ku mulimu gwabwe.

Owek. Male agamba nti kino kye kivuddeko okuweebuula ennono mu mikolo gy’okwanjula ekittattanye ekitiibwa kya Buganda wadde ng’abalung’amya bano oluusi ekituufu babeera bakimanyi.
Minisita Kyewalabye annyonnyodde nti bano okubabangulira munda mu Lubiri baagadde okubalaga obukulu bw’amaka mu Buganda n’abasaba emikolo gino okugikola nga bagenderedde okuyimusa amaka n’okugatandika mu mikolo gy’okukyala awamu n’okwanjulwa.
Ono agasseeko nti ebintu bikyuse nnyo mu kwanjula era tebagenda kulwanyisa nkyukakyuka wabula obuwangwa n’ennono birina okubeera ku mwanjo wakati w’ensi enkulaakulana ne Tekinologiya.
Abakuutidde okubeera abamalirivu era bekkiririzeemu kibayambe obutabawambibwako buyinza bwabwe okuva eri abo ababeera babayise okugirung’amya.
Owek. Male era asinzidde wano natongoza akakiiko akagenda okutegeka okulonda kw’abalung’amya b’emikolo mu Buganda nga kano kagenda kulirwa Rev. Elijah Kyobe.

Abalung’amya emikolo gino nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe, Hannington Ssonko Ssembatya, beeyamye okutambuliza ennono n’obuwangwa ku mwanjo nga bakola emirimu gyabwe okusobola okuzza ekitiibwa kya Buganda.
Beeyamye okutereeza omulimu gwabwe awamu n’okulambika amaka gye babeera balaze okwongera okutumbula ekitiibwa kya Buganda.
Era basabye omusomo guno gubeewo buli mwaka ku lw’obulungi bw’omulimu gwabwe, kiyambe okwongera okubalung’amya.









