
Bya Francis Ndugwa
Namirembe – Kyaddondo
Omulangira David Kintu Wasajja ategeezezza nti Kawekene Apollo Milton Obote ne musajja we Idi Amin Dada bwebalumba Olubiri nga May 24,1966 balowooza nti Buganda bagiziise naye basiga nsigo ya Bwakabaka eyaddamu nemeruka.
“Bannaffe abaali balowooza nti batuziise naye ate basiga nsigo ey’Obwakabaka. Olunaku luno era lwa kweyanza Katonda ayisiza Buganda mu kusomooza okwo kwonna okwa 66 n’okutuusa kati. Twebaza Katonda olw’ obulamu bwawadde Ssaabasajja n’amaanyi n’obwesimbu okusobodde okuzzaawo Obwakabaka okutuusa webuli kaakati,” Omulangira Wasajja bw’agambye.
Bino Omulangira abyogeredde mu lutikko e Namirembe ku Lwokubiri mu kusaba okwenjawulo okwategekeddwawo okujjukira bwegiweze emyaka 56 bukya Olubiri lulumbibwa mu 1966.

Ono annyonnyodde nti omulimu gw’okuzzaawo Buganda tegubadde mwangu nga oluusi bazimbye waliwo abazimbulula naye olw’obuvumu bwa Ssaabasajja Kabaka wabaddewo essuubi n’essanyu nga y’ensonga lwaki abantu basobola okweyagalira mu Buganda ya leero.
Omulangira Wasajja ategeezezza nga bwe beeyanza era nokujjukira abantu abafiira mu lubiri nga bakola buli ekisoboka okutaasa obulamu bwa Ssekabaka Edward Muteesa II awamu nabo abakola kyonna okumulabirira nga ali mu buwang’anguse.
Wasajja asabye abaana abato basembezebwe ku mwanjo basobole okuyiga ennono n’obuwangwa era baagale Obwakabaka ne Ssaabasajja Kabaka kuba bebagenda okukuuma n’okutaasa Nnamulondo awamu n’okuzimba Buganda ey’enkya.
Akuutidde abazadde n’abakulembeze okusobola okuyingiza abaana bano mu bibiina nga Nkobazambogo kuba bajja kubaamu omwoyo gw’eggwanga awamu n’ ensa ebibula mu bakulembeze abaliwo ensangi zino.
“Tusaanye abaana okubateekamu omutima gwa Buganda ogutafa kuba gwe gututuusizza wano. Tusaanye okubamanyisa nti Ssaabasajja ye kitaffe era bakole kyonna kyebasobola okumukuuma era bafune obusungu bwebalaba oyo yenna agezaako okutabangula oba okuyiikiriza Ssaabasajja, ” Omulangira Wasajja bw’annyonnyodde.
Mu bubaka bwe, Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ategeezeza nti nga abantu ba Buganda bajjukira obulumbaganyi ku Lubiri, basaana okukuuma obumu, basobole okufuna amaanyi okuyita mu byonna ebibasoomooza ensangi zino n’obuwanguzi.
Owek. Mayiga agasseeko nti Buganda tesaana kubeera mu kwekubagiza kubanga Kabaka kwali ku Nnamulondo, nasaba bannyikire okuzzaawo ekitiibwa kya Buganda mu mulembe guno Omutebi.
Omukolo gw’okusaba gwakulembeddwa Venerable Canon Jonathan Kisawuzi nga gwetabiddwako, Omulangira Daudi Golooba, Ssaabalangira Godfrey Musanje, Ba Katikkiro abaawummula, Oweek Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, Oweek Dan Muliika, Baminisita ba Kabaka, Oweek Noah Kiyimba, Oweek David Kyewalabye Male, awamu n’abakungu abalala.









