![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/03/Museveni-covid-3.jpg)
Musasi waffe
Olwaleero, omukulembeze w’eggwangaYoweri Kaguta Museveni agambye nti omuwendo gwa Bannayuganda abalina akawuka ka coronavirus baweze 44.
Kino kiddiridde okuzuula abantu abalala 11 nga balina akawuka kwabo 176 abaakeberebbwa.
Museveni yagambye nti bano bonna baana ba kkwaya ya kkanisa ya Watoto abaali baagenda e mitala wa Mayanja okuyimba.
Munnaku ebbiri emabega, Uganda yalina abantu 33 abaali bazuuliddwa n’akawuka.
Kyokka Museveni yagambye nti newankubadde ng’omuwendo gw’abalina coronavirus gugenda gulinnya, gavumentiye siyakukebera buli munnansi kubanga okukola kino, kyetaagisa essente nnyingi zaatalina.
“Ekirala tekiyamba nnyo era kukabera kubanga olwaleero omuntu ayinza okuba talina kawuka naye naakafuna enkya,” Museveni bweyagambye.
Museveni era yalagidde abantu bonna emmotoka zaabwe ezaabadde ziwambiddwa poliisi okuteebwa.
Eggulo omukulembeze yawadde ekiragiro eky’emmotoka ez’obuyonjo obutaddamu kutambula okusobola okwewala okusaasanya akawuka.