Bya Noah Kintu
Ssembabule
Abalimi n’abalunzi mu disitulikiti y’e Ssembabule abeegattira mu kibiina kya Ssembabule Farmers Association (SEDFA), basabiddwa okwettanira ennima ey’omulembe basobole okufunamu. Amagezi gano gabaweereddwa akulira ekibiina kya SEDFA era abadde omubaka w’essaza lya Mawogola mu Palamenti, Joseph Ssekabiito Kitayimbwa, n’asaba abalimi okukomya okulimira olubuto.
Omusomo guno guyindidde ku woofiisi z’ekibiina kino ezisangibwa mu Ssembabule Ttawuni kkanso nga bannakibiina kino bafundikira omwaka gwabwe ogw’ebyenfuna ogwa 2019/2020.
Akulira ekibiina kino Joseph Ssekabiito Kitayimba yasabye abalimi bano okwongera ku mutindo awamu n’obungi bw’emmwanyi ezirimibwa era bagatteko ebirime ebirala ebikula amangu, basobole obutadaaga.
Ono yennyamidde olw’ekibbattaka ekisusse mu ggwanga era n’asaba abali mu buyinza okubaako ekikolebwa mu bwangu kuba bannannyini bibanja mu ggwanga banyigirizibwa.
Ate akulira abakozi mu SEDFA, Godfrey Bitakalamire, asabye abantu mu Ssembabule okwettanira obwegassi basobole okutereka n’okusiga olwo bakulaakulane.
Bitakalamire agamba nti essira baakuliteeka ku kirime ky’emmwanyi era batumbule omutindo gwazo mu bammemba b’ekibiina kino basobole okwongera okufunamu.
Ono yannyonnyodde ng’ekirwadde kya Ssennyiga Corona bwe kitabangudde ebyenfuna byabwe wabula n’asiima abagabi b’omuyambi abasigala nga babadduukirira wadde ebyenfuna byali bidobonkanye.
Ate ye akulira eby’ebisolo n’obulunzi ku disitulikiti y’e Ssembabule, Dr. Kawooya Emmanuel, yeebazizza abaatandika ekibiina kino nti kuba kibakwatiddeko okukulakulanya abantu nga kibagabira ebyobulimi n’obulunzi okuli; embizzi, muwogo, amalagala n’ebirala.
Abeetabye mu lukiiko luno baasiimye ekibiina kino okubawa emmere y’okusimba ng’amalagala, muwogo n’ebirala, wabula abamu ne balaga okusoomoozebwa kw’obutale obutalabika.