• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abali ku ttaka lya Kabaka mukubirizibwa okwewandiisa – Minisita Mpanga

Gambuuze by Gambuuze
June 18, 2026
in Amawulire
0 0
0
Abali ku ttaka lya Kabaka mukubirizibwa okwewandiisa – Minisita Mpanga
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mmengo – Kyaddondo

Obwakabaka bwa Buganda bukubiriza abantu abali ku ttaka lya Kabaka okuwandiisa ebibanja byabwe nga bakwatagana wamu n’abakulembeze n’ekitongole kya Ssaabasajja Kabaka eky’ettaka ki Buganda Land Board.

Obubaka buno buvudde wa Minisita w’Ettaka n’Ebizimbe mu Bwakabaka Oweek. David F.K Mpanga, akiikiridde Katikkiro leero mu kutikkula oluwalo olusobye mu bukadde 37 oluvudde mu bantu ba Kabaka mu masaza 2; Buvuma ne Bulemeezi.

Minisita Mpanga akikaatirizza nti Obwakabaka tewali muntu gwe bugoba ku ttaka wadde okutwala ettaka ly’omuntu yenna kyokka buli omu asaanidde okumanyibwa, okwekuuma n’okukuumibwa ku ttaka lya Ssaabasajja olwo bakakalabye emirimu gyabwe nga batuukirizza obuwandiike bwabwe ku ttaka lya Beene.

Mu bubaka bwe obulala eri abantu ba Kabaka bano abakiise Embuga naddala abavudde mu bizinga by’e Buvuma, abasabye okutega amakubo ag’enjawulo mwe basobola okuggya ensimbi ez’okwebezaawo nga n’ensonga y’obuvubi bw’etereezebwa. Ono alabudde n’abantu ba Buganda ku ndwadde naddala eziva ku bujama.

“Munyikire okunaaba engalo zammwe buli kaseera, temusuulasuula bucupa, muyonje we muwangaalira ne we mukolera nga temulinze gavumenti kusooka kubadduukirira,” Minisita Mpanga.

Owek. David F.K Mpanga – Minisita w’Ettaka n’Ebizimbe

Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Oweek Joseph Kawuki asibiridde abayizi abakiise Embuga entanda, abasabye baluubirire okubeera ab’omugaso eri eggwanga naddala nga beegomba n’okuyigira ku bantu ab’enjawulo abakulembera obulungi, oba abakola emirimu emirala emirungi olwo nabo nga bavudde mu masomero bongere okutwala eggwanga mu maaso.

Omwami w’essaza Buvuma, Mbuubi Oweek. Mboowa Michael Wamala aloopye embuga embeera y’abavubi gye bawangaaliramu ku bizinga ey’obwavu n’obugubi olw’ensonga nti baagobwa ku nnyanja, bwatyo asabye ab’obuyinza okuddiriza mu mbeera eno ekosezza ennyo abantu abava mu bitundu eby’ebizinga.

Oluwalo luno lwetabiddwako Minisita w’Enkulakulaanya y’Abantu era avunanyizibwa ku woofiisi ya Maama Nnaabagereka Oweek. Choltildah Nakate Kikomeko, Omumyuka Asooka owa Mbuubi Mw. Henry Kiberu n’Omumyuka we Owookubiri Mw. Richard Ssemanda, bannabyabufuzi; Hon. Robert Ssekitoleko owa Bamunaanika, Ssentebe wa disitulikiti y’e Buvuma Mw. Matia Ochieng Matia, Omuyima w’abakulembeze w’abayizi Omulangira Ssansa Victor Nyabongo nabalala.

Abaleese oluwalo kubaddeko abavudde mu ssaza Buvuma; Mumyuka Bugaya, Ssaabaddu Busamizi, Ssaabagabo Nairambi, Ssaabawaali Bwema, Bulemeezi; Ssaabawaali Kalagala, Abakulembeze b’Abayizi ku mutendera gwa pulayimale n’ogwa secondary awamu ne Imo Online Shopping Store nga bonna baleese omugatte37,258,000/=

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.