Bya Ssemakula John
Kampala
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Kabaka abawangaalira ku mawanga ebunaayira, okwenyigira mu bukulembeze mu bitundu gye bali era bafeeyo n’okubaako kye basiga ku butaka, kiyambe okukulaakulanya Nnyaffe Buganda.
“Enkulaakulana ya Buganda ne Uganda tegenda kujjawo nga kya magero oba entuuko, naye tujja kukulaakulana nga tutegedde embeera mwe tuli era tusale amagezi agagwanidde ku bizibu bye tulimu,” Mayiga bwe yagambye.
Bino Katikkiro abyogedde aggalawo ttabamiruka w’abantu ba Kabaka abawangaalira e Bulaaaya mu Bungereza n’amawanga ga Scandanvian, eyayindidde ku mutimbagano gwa ZOOM eggulo ku Lwomukaaga.
Owek. Mayiga yabasabye banyweze obumu ng’abantu abava mu Buganda abawangaalira ebunaayira bakolere wano, kibayambe okwekulaakulanya wamu nkubaako bye bakola eka ku butaka nga batumbula embeera z’abantu abaasigala kuno, kibayambeko okugoba obwavu.
“Osobola okutereka ssente n’ebibiina by’Obwakabaka nga Ssuubi lyo Zambogo SACCO, bino nabyogerako mu July era mukozese emikisa Obwakabaka gye butaddewo okusigamu ensimbi ng’Owek. Waggwa Nsibirwa bwe yabalaze,” Mayiga bwe yabasabye.
Yeebazizza abantu ba Kabaka bano olw’okuvaayo okwenyigira mu lutalo lw’okukulaakulanya Obuganda era n’ategeeza nti kaweefube gwe baliko naddala ebyobulamu, y’ensonga lwaki baaweereddwa engule era ne Beene n’asiimibwa okukulemberamu olutabaalo ku kirwadde kya Mukenenya.
Katikkiro Mayiga yategeezezza abali ebunaayira nti balagidde abalonzi balonde abo abavuddeyo ku nsonga za Buganda era abanaasobola okukulaakulanya Uganda n’ebirowoozo ebizimba.
Kaweefube ono yeetabiddwamu bannaminisita bakabaka bonna okubadde ow’ebyobulamu, ow’ebyensimbi, ow’ebyobulimi n’abalala nga bano bateeseza ku nsonga ez’enjawulo ezisobola okukyusa obulamu bw’abantu ba Beene.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era omuwanika, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, yalambise abantu b’Omutanda abali ebunaayira, we balina okusiga ensimbi mu Bwakabaka ne Uganda, basobole okukulaakulana.
Ate ye Minisita w’ebyobulamu, Owek. Prosperous Nankindu, yalaze ebimu ku bintu Minisitule ye by’etuuseeko okukuuma abantu ba Kabaka nga balamu era n’abalaga n’ebyo bye basuubira okukola.
Minisita w’ensonga z’abantu ba Kabaka abawangaalira ebweru, Owek. Joseph Kawuki, yalaze obwetaavu bw’okutuusa obukulembeze wansi mu bantu mu masaza gano ag’ebweru era n’alaga n’enteekateeka Obwakabaka gye bulina okwongera okubakulaakulanya.