Bya Shafic Miiro
Kalasa – Bulemeezi
Obwakabaka buguddewo eddwaaliro e Kalasa mu ggombolola y’e Makulubita mu Bulemeezi eriweereddwa erinnya “Eddwaaliro Muteesa II – Kalasa” nga lino ly’eddwaaliro ery’okubiri eriguddwawo Obwakabaka oluvannyuma lwe lyasoose okuggulibwawo e Nsangi mu Busiro, gano gombi gagguddwawo ng’ekimu ku bikujjuko by’okujjukira Amatikkira ga Kabaka Mutebi II ag’omulundi ogwa 31.
“Kabaka yasiima obujjanjabi obusookerwako nga bwa mutindo ate nga busoboka bubunyisibwe mu Buganda yonna” – Katikkiro. Bino abitadde mu bubaka bw’atisse Oweek. Dr. Anthony Wamala amukiikiridde mu kuggalawo eddwaliro ly’e Kalasa.
Katikkiro atenderezza aba Buladde Medical Research Institute abaweereddwa eddimu ly’okuddukanya eddwaaliro lino ku lw’Obwakabaka, olw’obumanyirivu bwe balina mu kujjanjaba n’okunonyereza ku ndwadde n’eddagala etuufu, era abasabye okuwa abantu b’Omutanda obuweereza obulungi.
Oweek. Anthony Wamala nga Ssentebe w’enteekateeka z’okujjukira Amatikkira ga Kabaka omwaka guno, okusooka yeebazizza Ssaabasajja olw’obukulembeze obulungi obuleeseewo enkulaakulana mu bantu be mu Byobulamu, Ebyenjigiriza, Ebyobulimi n’ebirala era Bannakalasa ababuulidde enteekateeka ez’enjawulo eziteeteddwawo mu kujjukira Amatikkira g’omwaka guno, n’abasaba okuzeetabamu obutereevu naddala okusabira Kabaka n’Obuganda bwonna.
Oweek. Choltilda Nakate, Minisita w’Ebyobulamu mu Buganda agamba nti okusinziira ku mbalirira y’Obwakabaka 2024/2025, amalwaliro 5 mu Masaza ag’enjawulo gagenda kumalirizibwa era gano 2 mu Busiro ne Bulemeezi ge gasoose mu kiseera kino. Yeebazizza nnyo Maasomoogi olw’okusoosowazanga Ebyobulamu by’Abantu be, nga mu mbeera eno abazimbidde amalwaliro, okutegeka ensiisira z’ebyobulamu, okugaba n’okukuŋŋaanya omusaayi, ate n’okugaba sikaala eri abayizi batano buli mwaka okusoma obusawo.
Bwatyo Minisita Nakate akalaatidde abantu ba Buganda okukozesa omukwano Ssaabasajja gw’abalaze, nabo okufaayo ku bulamu bwabwe, nga beekebeza endwadde ez’enjawulo okumanya bwe bayimiridde, okufuna obujjanjabi, okukola dduyiro, okulya obulungi n’ebirala okusobola okubeera n’obulamu obweyagaza.
Omwami ow’Eggombolola Kawulukusi Lumbuye Goriath Ggombolola Mut. IV Makulubita yeebazizza nnyo Maasomoogi olw’okusiima n’awa abantu b’e Kalasa eddwaaliro, yeebaziza abantu bonna abatadde ettofaali okulaba nti eddwaaliro lino liyimirirawo kubanga ligenda kuyamba nnyo abantu b’omukitundu n’Essaza okutwaliza awamu.
Alaze essanyu olw’eddwaaliro lino okuggulibwawo ng’agamba nti wabaddewo obwetaavu bwa maanyi mu kitundu naddala mu bakyala abazaala era bwatyo asiimye nnyo okulaba nti eddwaaliro lino eribadde limaze ebbanga nga teriggulibwawo olw’ebisoomoza eby’enjawulo, omulimu gumaze ne gugguka.
Agamba nti abantu basaana bamanye nti eby’Obwakabaka bwa Buganda ssi bya buguutana ate newankubadde bitwala ekiseera, naye bya buwangaazi, era bwe bitandika bibeera ku mutindo, yeebaziza era yeebazizza Gavumenti ya Ssaabasajja olw’okuseesaamu buli kiseera okulaba ng’omulimu guno gugguka.
Alabudde ku bannakigwanyizi era n’atageeza nti ewateereddwa eddwaaliro lino waliwo yiika 15 ezisobola okuwagira eddwaaliro okutuuka ku referral bwatyo n’asaba Obwakabaka okunyweza n’okukuuma Ettaka lino n’okulikulaakulanya.
Mu kiseera eddwaaliro nga liggulwawo, mu lunaku wabadde wakabaawo abantu abazze okufuna obujjanjabi abawerera ddala 15, era bannakalasa betwogeddeko nabo, mu ssanyu eringi beebazizza Nnyinimu olw’ekirabo ly’eddwaaliro ky’abawadde nga bagamba nti ligenda kubayamba nnyo.