Abantu abalala basatu kikakasiddwa nti balina akawuka ka Coronavirus mu Uganda.
Minisita avunanyizibwa ku by’obulamu mu gavumenti eyawakati, Jane Ruth Aceng yategeezezza eggwanga nti abantu abalina senyiga omukambwe ono baweze 48.
Aceng yategeezezza nti abantu ababiri baava Dubai mu ggwanga lya United Arab Emirates ng’ate omulala yava Bungereza.
Museveni yagambye nti gavumentiye yakukola buli ekisoboka okulaba ng’obulwadde buno tebusaasaana.
W’osomera bino ng’abantu, 1083,843 bebaakakwatibwa ng’ate abalala 58,155 bebamaze okulugulamu obulamu.