Bya Ssemakula John
Kampala
Ab’ebyokwerinda mu ggwanga bategeezezza nga bwe bakutte abantu abalala 262 ku by’okwenyigira mu kwekalakaasa okwaliwo oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa kw’alina bbendera ya NUP, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) Ssabbiiti ewedde.
Abawagizi ba Bobi Wine baavaayo ne beekalakaasa mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu era nga poliisi yawalirizibwa okukozesa ttiyaggaasi n’amasasi okusobola okubagumbulula era okukakkana ng’abantu abawerako bafudde.
Okusooka ab’ebyokwerinda baategeeza nti baali bakutte abantu 577 mu nnaku ebiri okwekalakaasa kuno ze kwamala.
Omwogezi wa Poliisi, Fred Enanga, ategeezezza bannamawulire leero ku ssengejjero lya gavumenti ery’amawulire nti oluvannyuma lw’okwekenneenya obutambi, baliko abantu abalala 262 be baagombyemu obwala.
Okusinziira ku Enanga omugatte gw’abakwate guli 836 era nga ku bano 362 baamaze dda okusimbibwa mu kkooti ne bavunaanibwa omugaso gw’okukuma mu balala omuliro, okwonoona ebintu wamu n’okwekalakaasa mu ngeri emenya amateeka.
Abalala 633, Enanga annyonnyodde nti nabo Ssabbiiti eno bagenda kutwalibwa mu kkooti basobole okubitebya.
Poliisi eraga nti fayiro ze yaakamaliriza ziwera 116 naye nga baliko abalala abali bakuliddemu okwekalakaasa kuno be bakyanoonya era nga baakwongera okukozesa kkamera zaabwe okuzuula wonna we bali.
Ab’ebyokwerinda bagamba nti omuwendo gw’abantu abafudde gwalinnye okuva ku bantu 28 ne gutuuka ku bantu 45.
Enanga abuulidde bannamawulire nti n’omuvubuka Emmanuel Ssimbwa Ssebuliba eyalabikira ku katambi ng’akuba akulira poliisi y’e Nakivubo, Consulate Kasule, naye bamulina eyali agezaako okuggya emisanvu mu kkubo okuliraana ekizimbe kya Totalia Buliding naye bamulina.
Poliisi ennyonnyola nti basajja baayo 11 baakubibwa amayinja ne bafuna ebisago mu kwekalakaasa kuno ate ng’abantu ba bulijjo abasoba mu 100 baafuna ebisago.
Ayongeddeko nti baliko obutambi obwasaasaanyizibwa ku mutimbagano bwe bali mu kwetegereza ku bamu ku bantu abaali bakola effujjo n’asuubiza nti ne bano bagenda kukwatibwa.