• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abakyala Mugaane Abasajja, Tukomye Mukenenya – Katikkiro Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
December 1, 2025
in Amawulire
0 0
0
Abakyala Mugaane Abasajja, Tukomye Mukenenya – Katikkiro Mayiga
0
SHARES
199
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Maria Gorreth Namisagga

Mmengo – Bulange

Obwakabaka bwa Buganda bweggasse ku Nsi yonna okwefumiitiriza ku bulwadde bwa mukenenya, abaweereza mu bitongole by’Obwakabaka byonna bakungaanidde mu Bulange e Mengo okukola dduyiro ow’awamu n’okufuna obubaka obw’okwebuulira ku bukulu bw’okulwanyisa obulwadde buno.

Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga asinzidde wano n’ajjukuzizza abantu ba Buganda nti Kabaka okubeera emunyenye mu kulwanyisa ku lukalu lwa Africa, abantu be bonna balina okukwatira awamu okutwala mu maaso obubaka bwa Ssaqbasajja obw’okulwanyisa mukenenya, bugende okutuuka mu mwaka 2030, nga afuuse lufumo.

Kamalabyonna Mayiga ategeezeza nti ebibalo biraga nti omuwendo gw’abakazi abakwatibwa akawuka ka mukenenya gguli waggulu ddala kumpi kukubissamu gwa basajja, era wano asabye abakyala bagaane ebyo byonna ebibagambibwa abasajja nga basendasenda okugenda nabo mu bikolwa eby’omukwano, abakubirizza okugaana abasajja okuggyako nga basoose kutegeera basajja abo bwe baba bayimiridde.

“Ssiriimu ayita mu kwegatta, abasajja emirundi egisinga be batandika ebintu bino, ate mmwe ne muba nga mmwe musinga okukwatibwa, n’olwekyo mugaane, abakyala mukole mutya mugaane, kaakati bwemunagaana , abasajja bagenda kunyiiga, okunyiga kw’omusajja tekutta naye siriimu atta” Katikkiro akkaatiriza.

Owek. Mayiga akubirizza abantu ba Buganda okubeera abalabufu, obutatya kwekebeza kumanya bwebayimiridde, era naabo abalina obulwadde okugenda bafune eddagala.

Dr. Shaban Mugerwa nga y’akiikiridde Uganda AIDs Commission mu nteekateeka eno, yebazizza nnyo Ssaabasajja olw’okubeera omumuli ogw’okulwanyisa mukenenya, kyokka n’awakanya ebyo ebyogerwa abavubuka nti bwe bunaatuukira mu 2030, ssiriimu ajja kuba aweeddewo nga tebakyakozeza bupiira, agamba nti kino kikyamu kubanga kye baliko kwe kulaba nga mukenenya taddamu kusaasana, kale nga okwekuuma tekulina kukoma.

“Oweekitiibwa Katikkiro babadde bagamba nti webunaatuukirra mu mwaka 2030 nga condom bazisuula eri kubanga akawuka ka mukenenya Ssaabasajja ajja kuba amaze okukalwanyisa, nga akamazeewo, amawulire ago ssi matuufu, kubanga okumalawo mukenenya, tutegeeza nti mu mwaka 2030, wajja kuba tewakyali asiigibwa mukenenya, kyokka abalwadde bajja kuba bakyaliwo, kale abatalina nga tulina kulaba nti tebasiigibwa” Dr.Shaban.

Omumyuka Owookubiri owa Kaggo Dr. Fiona Nakalinda Kalinda asabye abo bonna abali mu lusegere lwa ba maama abazito okubakubiriza okugenda mu ddwaliro gye baba bazaalira, kisobole okukendeeza ku baana abafuna akawuka akabasiigibwa mu kiseera ky’okuzaala.

Ono era akalaatidde abavubuka okubeera abengereza ennyo kubanga be basinga okubeera ku mwanjo ku kukwatibwa obulwadde kale nga balina okwewala obutagwa mu butego bubasuula m7 kusiigibwa mukenenya.

Omu ku baana abaazaalibwa n’akawuka Onyaki Joel, agamba nti bwe yamanya nti alina mukenenya ku myaka 10 gyokka, yaggwaamu essuubi, kyokka oluvannyuma lw’okuwabulwa yaddamu amaanyi era nga kati emirimu gye agikolera ddala bulungi.

Ebibalo ebyasembayo okukolebwa mu 2024 biraga nti abantu abalina akawuka bali akakadde kamu n’ekitindu (1,500,000); abakyala (930,000), ate abaami (570,000) ate abaana (71,000).

Enteekateeka eno yetabiddwamu Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika, Minisita w’Ebyobulamu Owek. Cholitilda Nakate Kikomeko, Minisita Noah Kiyimba, Minisita Israel Kazibwe Kitooke, Bassenkulu b’ebitongole n’abaweereza mu bitongole byonna.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.