
Bya Pauline Nanyonjo
Ssingo
Abakyala Ba Buganda mu Ssaza Ssingo balaze obutali bumativu ku bantu abakozesa obubi Omutimbagano nebamaliriza nga bavvodde abantu ab’enjawulo n’Obwakabaka.
Bano okwogera bati basinzidde ku mukolo gw’Abakyala Ba Buganda ab’e Ssingo ogutegekeddwa ku mbuga y’ Eggombolola ya Mutuba 1 Bukuya mu Kassanda.
Atwala ekitongole ky’ abakyala n’abaana mu Ssingo, Owek. Agnes Nkugwa naasaba abazadde okulondoola abaana n’engeri gyebakoesaamu omutimbagano kibayambe okufuna emiganyulo egigwanidde mu Tekinologiya.
Owek. Nkugwa era asabye abaana obutasirika nga bafunye okutulugunyizibwa mu maka gaabwe n’ategeeza nti Obwakabaka butaddewo emisomo egy’enjawulo okusobola okugonjoola obutabanguko mu maka gasobole okubeera agegombesa.

Abatwala eby’ebyokwerinda mu Kassanda basabye abazadde okuweyunira ennyo ekitongole kya poliisi ekikola ku nsonga z’abaana n’Amaka basobole okumanya amateeka n’okuyambibwa mu ngeri ezitali zimu.
Abakyala abeetabye ku mukolo guno mu alipoota yabwe balaze okusomoozebwa kwe bayitamu mu maka omuli, obutabanguko, obujeemu bw’abaana, n’obutaba na nsimbi zikozesebwa mu maka ekintu ekikalubizza embeera yaabwe .
Bano boolesezza ebintu eby’enjawulo, omuli okufumba, okukola amanda, emmere ennansi n’ebiringa ebyo.