Bya Huzairu Jjuuko Wasajja
Mmengo – Kyaddondo
Nga Buganda ne Uganda beteekerateekera okujaguza olunaku lw’Abaana abazaalibwa n’obulwadde bwa zamufuula “Clubfoot” nga 25 Ssebaaseka e Luwero, Bulemeezi, Minisita w’enkulaakulana y’Abantu mu Buganda Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko, akubirizza bannakazadde b’eggwanga mu kiseera nga bali mbuto okwettanira amalwaliro agalina abasawo abakugu.
Minisita Choltilda Nakate, asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku Bulange n’ategeeza nti “twagala okukubira abakyala omulanga okukubiriza ba maama abali embuto okunywera eddagala mu malwaliro agalimu abasawo abakugu okusingira ddala mu malwaliro ga gavumenti, ate ne mu Buganda tukimanyi bulungi nti Ssaabasajja Kabaka azimbye amalwaliro agawera ate yonna waliyo abakugu”.

Minisita Nakate agamba nti abakyala bangi abali embuto beesulirayo gwa nnaggamba okunywa eddagala, bw’atyo n’abasaba okwettanira amalwaliro g’Obwakabaka baweebwe eddagala erinaabasobozesa okwewala endwadde nga zamufuula.
Oweek Choltilda asabye abakyala abali embuto okubeera ab’obuvunaanyizibwa nga bakozesa eddagala lya Vitamin C okuva mu malwaliro ga Kabaka e Busimbi Ssingo, Nsangi Busiro, ne Bukalasa e Bulemeezi, era n’agumya abakyala abaazaala abaana abalina obulwade buno nti busobolera ddala okuwona si nga abaana abo bafuna obujjanjabi nga tebannaweza mwaka gumu nebasobola okufuna obugatto, era nebasibwako ebisementi ku magulu bawonera ddala..
Awadde eky’okulabirako kya bannakinku mu kukyanga akapiira abajjanjjabwa ne bawona era kati bagagga lwa kusamba mupiira, okugeza omuzannyi wa Argentina Lionel Messi, ne Stephen Gerrard eyagusambirako mu Liverpool, bajjanjjabwa ne bawona ekirwadde kino.









