
Bya Ssemakula John
Kyaddondo
Omwami wa Kabaka atwala essaza Kyaddondo, Kaggo Ssaalongo Magandaazi Matovu Ahmed, asabye abakyala okukuliza abaana mu mpisa nga beesigamye ku nnono n’obuwangwa kiyambe okufuna abantu abajja okugasa eggwanga lino mu maaso.
Obubaka buno abuweeredde mukutongoza obukiiko bw’abakulembeze b’abakyala mu ssaza Kyaddondo ku mbuga ye Ssaza lino e Kasangati ku Lwokuna.
Kaggo Magandaazi abakyala abafalaasidde bulijjo okwetanira tekinologoya bamweyambise mu buli kyebakola okusobola okwekulaakulannya n’okumanya ebigenda mu maaso .
Omukulembeze w’Abakyala mu ssaza Kyadondo, omuzaana Agnes Kimbugwe agamba nti newankubadde nga balwannye abakyala okwekulaakulanya kyokka basanga okusoomozebwa ebikozesebwa nensimbi okwongera mu mirimu gyebakola nga beetaaga okubakwasizaako.
Ye omukiise wa Kyaddondo mu lukiiko lwa Buganda, Owek.Jane Francis Lukwago akubiriza abakyala okukolera awamu kubanga lwelutindo olwokubayunga ku nkulaakulana eyomuggundu.
Omukolo guno gwetabiddwako abakulembeze babakyala mu gombolola ezenjawulo mu Ssaza Kyadondo era bano booleseza nebimu ku bintu byebakola .









