Bya Musasi Waffe
Abawagizi b’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) abaakwatibwa ku bigambibwa nti baavuma Pulezidenti Museveni nga bali mu lukung’aana e Bukomansimbi, bayimbuddwa.
Bano kuliko; Alex Ssempijja, Fred Kalanzi ne Abdul Ssentamu, nga bano babadde baakava mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM), ne beegatta ku kibiina kya NUP.
Bannakibiina bano baakwatiddwa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, oluvannyma lw’olukung’aana olwali ku kisaawe e Kawoko mu ggombolola y’e Butenga.
Poliisi yawaliribwa okuggyayo ttiyaggaasi n’amasasi okugumbulula olukung’aana luno.
Omuduumizi wa poliisi mu Bukomansimbi, Sowedi Manisuri, yagambye nti bano baavuma Pulezidenti Museveni ne Minisita Nakiwala Kiyingi.
Okusinziira ku Manisuri, bano baavunaaniddwa emisango okuli okutangira abapoliisi okukola emirimu gyabwe wamu n’okuvuma Pulezidenti.
Bano sitatimenti gye bakola ku poliisi eraga nti waliwo abapoliisi basatu abaakubwa amayinja ku lukung’aana luno.
Atwala poliisi mu ttundutundu lya Masaka, Muhammad Nsubuga, yannyonnyodde nti bano baabayimbudde ku kakalu ka kkooti ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
Yalabudde abapoliisi okukomya okukozesa olulimi oluvuma n’ategeeza nti bajja kubakwata bavunaanibwe.
Alina bendera ya NUP ku bwassentebe bwa Bukomansimbi LCV, Muhammad Nsubuga, yategeezezza nti tewali nsonga lwaki poliisi ekwata abantu baayo kubanga bakola buli kimu okugoberera ebiragiro bya Ssennyiga Corona.
Nsubuga yagasseeko nti abawagizi bano baakwatiddwa ku biragiro bya Ssennyiga Corona olw’okuba beegatta ku Opozisoni nga bava mu NRM.
URN