Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka-Buddu
Akakiiko akatwala abakurisitu mu Masaka bagenyiwaddeko ewa Ppookino ku kitebe kye ssaza okuggumizza obumu mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka mu Buddu.Bano obugenyi bwabwe bwabaddewo ku Mmande ya wiiki eno era nga bakulembeddwamu Ssaabakurisitu Regina Nalubega Kitaka era ku lwa banne ono yategeezezza nti Eklezia n’Obwakabaka balina bingi bye bafaananya.
Mu bino mulimu ensonga Ssemasonga ettaano Eklezia kw’etambulira omuli; okutumbula obukulembeze n’enzirukanya y’emirimo, okuzimba n’okunnyikiza enzikiriza y’Ekikatoliki, okutumbula enkola n’empeereza y’Abakurisitu, okutumbula okwekulaakulanya mu bantu ssaako n’okutumbula omutindo gw’ebyengunjula n’enjigiriza mu ssaza wonna.
Nalubega yeebazizza abakulira essaza Buddu n’Obwakabaka olw’okutumbula embeera z’abantu nga balwanyisa ebirwadde nga Nnalubiri n’ekikulukuto mu bakyala (Fistula).
Omubaka wa Kakuuto, Christopher Kalemba, nga y’akulira abasajja mu ssaza ly’e Masaka, yasabye enkolagana okweyongera wakati w’Obuganda n’Eklezia, basobole okulwanyisa ekibbattaka mu Buganda.
Omulungamya w’abakurisitu, Rev. Fr. George William Lubega, yennyamidde olw’okwanjula okwebbeyi okulemesezza abavubuka okuwasa n’asaba wabeewo ekikolebwa.
“Okwanjula okwebbeyi kulemesezza abavubuka bangi okuwasa ate abalala ne bamala ne baana bannaabwe emyaka mingi nga tebabanjudde nga balinda lwe baliweza ebintu.” Bw’atyo Fr. Lubega bwe yategeezezza, ky’agambye nti kittattana eddiini n’obuwangwa.
Ppookino Jude Muleke yasiimye okujja kwa bano wabula n’asaba Eklezia ebakwatireko okulambika abavubuka naddala abakozesa emitimbagano mu bukyamu. Ku bisoomoozo ebiri mu kwanjula, Muleke yategeezezza nga nabo wabali mu nteekateeka ez’okulambika okwanjula kuba ebintu bingi ebireeteddwa ebitali bya wano.
Ono era yasabye okuteeka abaliko obulemu ku kakiiko k’abakurisitu kano era n’asaba amasinzizo gonna okufaayo mu kuteekawo abataputa ab’obubonero kisobozese abaliko obulemu nabo okubeera nga bagoberera.
Abakurisitu bano balina bye bawaddeyo mu kuddukanya essaza omubadde n’okusonda mu kuzimba Buddukiro, ekipande ekiriko obubaka obulwanyisa Ssennyiga omukambwe Covid n’ebirala.