Bya URN
Ab’ebyokwerinda
olwaleero batutte entyagi abakungubazi ababadde bakungaanye okuziika omusuubuzi
w’e Kabale Amon Paddy Amanya.
Amanya yatiddwa ku lw’okubiri era omulambo ggwe n’egusuulibwa
okuliraana ekkolero ly’amajani erya Highland
tea factory mu muluka gw’e Kitumba.
Ono yasembayo okulabwa ku Bbalaza bweyali ava ku mirimu gye.
Ng’ebikumi n’ebikumi by’abantu bikungaanidde ku kisaawe ky’essomero lya Emmaus Bile mu divizoni ya Bugongi, ab’ebyokwerinda nga bakulembeddwamu Darius Nadinda, omubaka wa pulezidenti e Kabale ne Patrick Besigye Keihwa, ssentebe wa disitulikit y’e Kabale balumbye ekifo kino nebabuuza lwaki abantu baabadde bajeemedde ekiragiro kya pulezidenti eyaweze enkungaana nga n’okuziika mw’okutwalidde.
Bano baabadde bakulembeddwamu omusumba wa balokole Johnson Bakashaba, akulira ekkanisa ya Revival Outreach Ministries.
Ono olwalabye ab’ebyokwerinda n’amalamu omusulo.
Bano era beewunyizza
nti poliisi y’ekitundu yabadde ewadde abantu bano obukuumi.
Omusirikale Kenneth Asiimwe, eyasangiddwa mu kifo kino
yagambye nti mukama waabwe Dan Byaruhanga, amyuka atwala poliisi y’e Kigezi
Region yeyabadde abasindise.