Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka
Abanene mu poliisi beesitudde nebagenda ew’Omusumba w’essaza ly’e Masaka eyawummula, John Baptist Kaggwa, bamwetondere ku kikolwa kya basajja baayo okukuba ttiyaggaasi mu Mmisa wamu n’okulagira abaabadde bakung’aanye buli omu okulaba eryamuleese.
Ku bano kubaddeko akwanaganya poliisi n’ebyobufuzi, Asan Kasingye, akulira eby’okuketta mu poliisi, Ddamulira Christopher SSerunjogi, n’akulira eby’obutendekebwa Godfrey Ggoloba.
Abapoliisi bamusanze mu maka ge ku ssaza e Kitovu era ng’ensisinkano eno yeetabiddwamu n’Omusumba wa Masaka aliko mu kiseera kino, Omusumba Serverus Jjumba.
Kasingye asoose kwetonda ku ebyo ebyaliwo n’asaba abo bonna abategeka emikolo okusookanga okufuna olukkusa kubanga ekiseera kye tulimu kya Ssennyiga Corona.
“Nze nga munnaddini nabasonyiwa dda kuba kiri mu nzikiriza yaffe okusonyiwa.” Omusumba Kaggwa bw’ategezezza nga yaakatandika okwogera.
Omusumba Kaggwa agambye nti abapoliisi tebaawa bantu bali Mugulu kwennyonnyolako era ng’embeera y’obunkenke gyebaateekamu abantu yali teyeetaagisa era nga n’ebiragiro bya Ssennyiga Corona byali bikwatiddwa bulungi.
Era Omusumba abasabye ab’ebyokwerinda okukolayo ekiwandiiko ekyetondera eggwanga lyonna olwebyo bye bakoze, kisobole okuzza emitima gy’abantu.
Kasingye yeebazizza Omusumba Kaggwa olw’okubasonyiwa n’asuubizza nti bagenda kubagawo ekiwandiiko ekyetonda mu butongole eri bannansi era nga kino kkopi bajja kugiweerezaako akulira olukiiko lw’abasumba, Katikkiro wa Buganda wamu n’abeekika ky’Embogo.
Ye ate Omusumba w’e Masaka, Bishop Serverus Jjumba, alaze obwennyamivu ku bikolwa bya poliisi era n’abasaba okweddako.